bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 5
Revelation 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
1
Ne ndaba omuzingo gw'ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka, nga kiwandiikiddwa munda ne kungulu, era nga kisibiddwa n'obubonero musanvu.
2
Awo ne ndaba malayika ow'amaanyi. N'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Ani asaanidde okubembula obubonero ku muzingo gw'ekitabo, n'okugwanjuluza?”
3
Ne wataba n'omu mu ggulu ne ku nsi, wadde wansi w'ensi, ayinza okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu.
4
Nze ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabikawo asaanira okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo, wadde okugutunulamu.
5
Awo omu ku bakadde n'aŋŋamba nti: “Tokaaba. Laba, Empologoma ow'omu Kika kya Yuda muzzukulu wa Dawudi yawangula, era asobola okubembula obubonero omusanvu, n'okwanjuluza omuzingo gw'ekitabo.”
6
Ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'ayimiridde wakati awali entebe ey'obwakabaka, nga yeetooloddwa ebiramu ebina, n'abakadde, ng'afaanana ng'eyattibwako. Yalina amayembe musanvu, n'amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egyatumibwa mu nsi zonna.
7
N'agenda, n'aggya omuzingo gw'ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka.
8
Bwe yagukwata, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mu abana, ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'Endiga. Buli omu yalina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane: ze ssaala z'abantu ba Katonda.
9
Ne bayimba oluyimba oluggya nga bagamba nti: “Osaanidde okutwala omuzingo gw'ekitabo, n'okubembula obubonero bwagwo, kubanga wattibwa, era olw'okufa kwo, wanunulira Katonda abantu mu bika byonna, ne mu nnimi zonna, ne mu bantu bonna, ne mu mawanga gonna,
10
n'obafuula Obwakabaka era bakabona ba Katonda waffe, ab'okufuga ensi.”
11
Awo ne ntunula era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi, enkumi n'enkumi, obukadde n'obukadde, nga beetoolodde entebe ey'obwakabaka n'ebiramu, n'abakadde.
12
Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Omwana gw'Endiga, ggwe eyattibwa, osaanidde okubeera n'obuyinza, n'obugagga, n'amagezi, n'amaanyi, era osaanidde okuweebwa ekitiibwa, n'okugulumizibwa, n'okutendebwa!”
13
Era ne mpulira buli kitonde mu ggulu ne ku nsi, ne wansi w'ensi ne mu nnyanja, byonna nga bigamba nti: “Oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka era n'Omwana gw'Endiga, atenderezebwe, aweebwe ekitiibwa; agulumizibwe, era abe n'obuyinza emirembe n'emirembe!”
14
Ebiramu ebina ne bigamba nti: “Amiina.” N'abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama ne basinza.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22