bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 14
Revelation 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
1
Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba omwana gw'Endiga ng'ayimiridde ku Lusozi Siyooni, ng'ali wamu n'abantu emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya, ng'erinnya lye n'erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi byabwe.
2
Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga liri ng'ery'okuyira kw'amazzi amangi, era nga liri ng'eddoboozi ly'okubwatuka kw'eraddu okw'amaanyi. Eddoboozi eryo lye nawulira lyali ng'ery'ennyimba z'abakubi b'ennanga nga bakuba ennanga zaabwe.
3
Ne bayimba oluyimba nga bali mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, n'ag'ebiramu ebina, n'ag'abakadde. Oluyimba olwo nga luli ng'oluggya, era nga tewali mulala ayinza kuluyiga, okuggyako abo bokka emitwalo ekkumi n'ena mu enkumi ennya, abaali banunuddwa mu nsi.
4
Abo be bateeyonoona na bakazi, ne basigala nga batukuvu. Abo ne bagenda n'Omwana gw'Endiga buli gy'agenda. Baanunulwa mu bantu abalala, ne baba ababereberye mu kuweebwayo eri Katonda, n'eri Omwana gw'Endiga.
5
Teboogerangako bya bulimba, era tebabangako kamogo.
6
Awo ne ndaba malayika omulala ng'abuukira waggulu mu bbanga, ng'alina Amawulire Amalungi ag'emirembe n'emirembe, g'aweereddwa okutegeeza abali ku nsi, ab'amawanga gonna, n'ab'ebika byonna, n'ab'ennimi zonna, n'abantu bonna.
7
N'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera kituuse asale omusango. Kale mumusinze eyatonda eggulu n'ensi, n'ennyanja, n'ensulo z'amazzi.”
8
Ne malayika owookubiri n'agoberera ng'agamba nti: “Kigudde, kigudde Babilooni ekibuga ekinene. Ebibi byakyo eby'obukaba n'obwenzi byaleetera amawanga gonna ag'oku nsi okwonoona mu ngeri ye emu. Ekibuga ekyo kyali ng'ekinywesezza amawanga gonna omwenge. Kale Katonda kyaliva agabonereza.”
9
Malayika owookusatu n'agoberera bali ababiri, ng'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Buli muntu asinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, n'akkiriza n'okuteekebwako akabonero mu kyenyi kye, oba ku mukono gwe,
10
Katonda alimubonereza n'obukambwe. Aliba ng'anywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogutajunguluddwa, ogufukiddwa mu kikopo ky'obusungu bwa Katonda. Era alibonyaabonyezebwa n'omuliro, n'ebibiriiti, mu maaso ga bamalayika abatukuvu, n'ag'Omwana gw'Endiga.
11
Omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gwa kunyooka emirembe n'emirembe. Abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli alina akabonero k'erinnya lyakyo, tebalibaako we bawummulira emisana n'ekiro.”
12
Kino kitegeeza nti abantu ba Katonda basaana okuba n'okugumiikiriza, be bantu ba Katonda abakwata ebiragiro bye, ne bagoberera Yesu n'obwesigwa.
13
Awo ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga ligamba nti: “Wandiika nti: Okuva kati balina omukisa abafa nga bagoberezi ba Mukama waffe. Ddala bw'atyo Mwoyo bw'agamba nti okutegana kwabwe kuwedde, bawummule, kubanga ebikolwa byabwe bagenda nabyo.”
14
Awo ne nnyimusa amaaso, ne ndaba ekire ekyeru, era nga ku kire ekyo, kutuddeko afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ng'alina engule eya zaabu ku mutwe gwe, n'ekiwabyo mu ngalo ze.
15
Awo malayika omulala nava mu Ssinzizo, ng'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba oyo atudde ku kire nti: “Kozesa ekiwabyo kyo, okungule. Ekiseera eky'amakungula kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi byengedde.”
16
Awo oyo atudde ku kire n'awuuba ekiwabyo kye ku nsi, eby'oku nsi ne bikungulwa.
17
Malayika omulala n'ava mu Ssinzizo ery'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo ekyogi.
18
Awo ne malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro n'ava ku kyoto, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba oyo alina ekiwabyo ekyogi nti: “Kozesa ekiwabyo kyo ekyogi, okungule ebirimba by'emizabbibu egy'oku nsi, kubanga ebirimba byagyo byengedde.”
19
Awo malayika n'awuuba ku nsi ekiwabyo kye, n'akungula ebirimba byayo eby'emizabbibu, n'abisuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda.
20
Ebirimba ne bisogolerwa ebweru w'ekibuga, essogolero ne livaamu omusaayi, ne gutuuka ku bugulumivu obusobola okubulizaamu amagulu g'embalaasi, ne gukulukuta kilomita nga ebikumi bisatu.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22