bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 6
Revelation 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
1
Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akamu ku bubonero omusanvu, era ne mpulira ekimu ku biramu ebina, nga kyogera mu ddoboozi eriri nga laddu nti: “Jjangu!”
2
Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enjeru. Oyo agyebagadde yalina omutego. N'aweebwa engule, n'agenda ng'awangula, alyoke awangulire ddala.
3
Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kigamba nti: “Jjangu!”
4
Ne wavaayo embalaasi endala, nga mmyufu. Oyo agyebagadde yalina obuyinza okuleeta olutalo ku nsi, abantu battiŋŋane. N'aweebwa ekitala ekinene.
5
Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookusatu, ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kigamba nti: “Jjangu!” Ne ntunula, ne ndaba embalaasi enzirugavu. Oyo agyebagadde yalina minzaani mu mukono gwe.
6
Ne mpulira ng'eddoboozi eryogerera wakati w'ebiramu we byali, nga ligamba nti: “Ekigero kimu eky'eŋŋaano, kya mpeera ya lunaku lumu; n'ebigero bisatu ebya bbaale bya mpeera ya lunaku lumu. Omuzigo n'omwenge ogw'emizabbibu tobyonoona.”
7
Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookuna, ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kigamba nti: “Jjangu!”
8
Ne ntunula, ne ndaba embalaasi eya kivuvvu. Agyebagadde erinnya lye nga ye Kufa, ate Magombe ng'ajja amugoberera. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu ekimu ekyokuna eky'ensi, bassise ekitala n'enjala n'endwadde, n'ebisolo eby'oku nsi.
9
Omwana gw'Endiga bwe yabembula akabonero akookutaano, ne ndaba wansi wa alutaari, emyoyo gy'abo abattibwa olw'okukkiriza ekigambo kya Katonda, n'olw'okukitegeeza abantu.
10
Ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nga bagamba nti: “Mukama Omutuukirivu era ow'amazima, olituusa ddi obutasalira bantu ba ku nsi musango kubasinga, n'obabonereza olw'okututta?”
11
Buli omu ku bo n'aweebwa ekyambalo ekyeru, ne bagambibwa okugira nga balindako akaseera katono okutuusa omuwendo gwa baweereza bannaabwe era baganda baabwe ab'okutiibwa nga bo, lwe guliwera.
12
Awo ne ndaba Omwana gw'Endiga ng'abembula akabonero ak'omukaaga. Ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjuba n'ezikira n'efaanana ng'ekikutiya ekiddugala, n'omwezi gwonna ne gumyuka ng'omusaayi. 24:29; Mak 13:24-25; Luk 21:25
13
Emmunyeenye ne ziva ku ggulu ne zigwa ku nsi, ng'ebibala by'omuti omutiini ebitannayengera bwe bikunkumuka wansi nga kibuyaga ow'amaanyi agunyeenyezza.
14
Eggulu nalyo ne livaawo ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwako. Buli lusozi na buli kizinga ne biggyibwa mu bifo byabyo.
15
Bakabaka b'ensi, n'abakungu, n'abakulu b'amagye, n'abagagga, n'ab'amaanyi, n'abantu bonna, abaddu n'ab'eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi ez'oku nsozi.
16
Ne bagamba ensozi n'amayinja nti: “Mutugweko, mutukweke, oyo atudde ku ntebe ey'obwakabaka aleme kutulaba, era mutuwonye obusungu bw'Omwana gw'Endiga.
17
Olunaku Katonda n'Omwana gw'endiga lwe balisunguwalirako lutuuse, ani ayinza okuguma?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22