bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 3
Revelation 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
1
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Sarudi muwandiikire nti: Oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n'emmunyeenye omusanvu, bino by'agamba nti: Mmanyi by'okola. Mmanyi ng'omanyiddwa nti oli mulamu, sso ng'oli mufu.
2
Tunula, onyweze ebyo ebikyasigaddewo nga tebinnafa, kubanga mu by'okola sirabamu kituukiridde mu maaso ga Katonda wange.
3
“Kale jjukira bye wayigirizibwa era bye wawulira, obikwate, weenenye. Bw'otootunule, ndijja ng'omubbi, era tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy'oli.
4
Naye mu Sarudi olinamu abamu abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe. Balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde.
5
Bw'atyo awangula, alyambazibwa ebyambalo ebyeru, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky'obulamu, wabula ndirangirira nti oyo wange, mu maaso ga Kitange n'aga bamalayika be.
6
“Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo.
7
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Filadelufiya muwandiikire nti: Oyo omutuukirivu era ow'amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, era aggulawo ne wataba n'omu ayinza kuggalawo, aggalawo ne wataba n'omu ayinza kuggulawo, bino by'agamba nti:
8
Mmanyi by'okola. Nakuggulirawo oluggi olutayinza kuggalwawo muntu n'omu. Mmanyi ng'olina amaanyi matono, kyokka wanywerera ku kigambo kyange n'otonneegaana.
9
“Kale abo abagoberezi ba Sitaani, abeeyita Abayudaaya sso nga si Bayudaaya, naye nga balimba bulimbi, ndibaleeta mu maaso go, bavuuname kumpi n'ebigere byo, bategeere nti nkwagala,
10
kubanga wakwata ekiragiro kyange ekigamba nti: ‘Gumiikiriza,’ nange ndikuwonya mu kiseera eky'okugezebwa, ekigenda okujja ku nsi yonna, okugeza abo abali ku nsi.
11
Njija mangu. Nyweza ky'olina, waleme kubaawo akutwalako ngule yo ey'obuwanguzi.
12
Awangula, ndimufuula empagi mu Ssinzizo lya Katonda wange, era talirivaamu. Ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n'erinnya ly'Ekibuga Yerusaalemu ekiggya, ekikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda wange. Era ndimuwandiikako erinnya lyange eriggya.
13
Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo.
14
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Lawodiikiya muwandiikire nti: Oyo ayitibwa Amiina, Omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, asibukamu ebyo Katonda bye yatonda, bino by'agamba nti:
15
Mmanyi by'okola. Mmanyi nga tonnyogoga era tobuguma. Waakiri nno obe ng'onnyogoga, oba ng'obuguma!
16
Naye kubanga oli wa kibuguumirize: tonnyogoga ate tobuguma, nja kukuwandula ove mu kamwa kange,
17
kubanga ogamba nti: ‘Ndi mugagga, nnina ebintu bingi, siriiko kye njula.’ Sso nga tomanyi ng'oli munaku era asaasirwa, ng'oli mwavu, muzibe, era ng'oli bwereere.
18
“Nkuwa amagezi onguleko zaabu eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale, era onguleko engoye enjeru oyambale, owone ensonyi ez'okuyita obwereere, onguleko n'eddagala ery'okusiiga ku maaso go, olyoke olabe.
19
“Nze bonna be njagala mbanenya era mbabonereza. Kale nyiikira, weenenye.
20
Nzuuno nnyimiridde ku luggi, nkonkona. Awulira eddoboozi lyange n'aggulawo oluggi, nnaayingira omumwe, ne tuliira wamu ffembi.
21
Oyo awangula, ndimukkiriza okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, nga nange bwe nawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.
22
“Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22