bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Revelation 20
Revelation 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
1
Awo ne ndaba malayika ng'akka ng'ava mu ggulu, ng'akutte mu ngalo ze ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma, n'olujegere olunene.
2
N'akwata ogusota, omusota ogwo ogw'edda, ye Mukemi era Sitaani, n'agusiba okumala emyaka lukumi.
3
N'agusuula mu bunnya obutakoma, n'aggalawo, n'ateekako n'envumbo, guleme okuddamu okulimbanga amawanga, okutuusa emyaka olukumi lwe giriggwaako. Egyo bwe giriggwaako, gwa kusumululwa okumala akaseera katono.
4
Awo ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga zituuliddwako abaweereddwa obuyinza okusala emisango. Era ne ndaba emyoyo gy'abo abaatemwako emitwe nga babalanga okunywerera ku Yesu, ne ku kigambo kya Katonda. Be bo abataasinza kisolo, wadde ekifaananyi kyakyo, era abatakkiriza kuteekebwako kabonero kaakyo mu byenyi byabwe, ne ku mikono gyabwe. Abantu abo baddamu okuba abalamu, ne bafugira wamu ne Kristo emyaka lukumi.
5
Abafu abalala tebaddamu kuba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwaako. Okwo kwe kuzuukira okusooka.
6
Ba mukisa era batukuvu abazuukirira mu kuzuukira kuno okusooka. Abo okufa okwokubiri tekubalinaako buyinza, naye balibeera bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye emyaka lukumi.
7
Emyaka egyo olukumi bwe giriggwaako, Sitaani alisumululwa mu kkomera lye.
8
Era aligenda okulimbalimba Googi ne Magogi, ge mawanga agali wonna wonna ku nsi. Alikuŋŋaanya abantu baago okulwana olutalo, nga bangi ng'omusenyu gw'ennyanja.
9
Ne batalaaga ensi yonna, ne bazingiza enkambi y'abantu ba Katonda, n'ekibuga Katonda ky'ayagala. Kyokka omuliro ne gukka nga guva mu ggulu, ne gubookya.
10
Ne Sitaani eyabasendasenda, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro, ogwaka ennyo, eyasuulibwamu ekisolo n'omulanzi ow'obulimba, mwe banaabonyaabonyezebwanga ekiro n'emisana, emirembe n'emirembe.
11
Awo ne ndaba entebe ey'obwakabaka, ennene era enjeru, ne ndaba n'oyo agituddeko. Ensi n'eggulu ne biva mu maaso ge, ne bitaddayo kulabikako.
12
Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe eyo ey'obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa. N'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku bye baakola, nga bwe byawandiikibwa mu bitabo.
13
Ennyanja n'ereeta abafu abagirimu. Okufa n'Amagombe nabyo ne bireeta abafu be birina. Bonna ne basalirwa omusango, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
14
Awo Okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Ennyanja eyo ey'omuliro kwe kufa okwokubiri.
15
Era buli muntu eyasangibwa ng'erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22