bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 1
1 Corinthians 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
1
Pawulo, eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw'okwagala kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda,
2
eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abaayitibwa okuba abatukuvu, wamu ne bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, ye Mukama waabwe era owaffe:
3
ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
4
Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw'ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu;
5
kubanga mu buli kigambo mwagaggawalira mu ye, mu kwogera kwonna ne mu kutegeera kwonna;
6
ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezebwa mu mmwe:
7
mmwe obutaweebuuka mu kirabo kyonna; nga mulindirira okubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo;
8
era alibanyweza okutuusa ku nkomerero, obutabaako kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
9
Katonda mwesigwa, eyabayita okuyingira mu kusseekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.
10
Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganye mwekka na mwekka, okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mube n'omutima gumu n'okulowooza kumu.
11
Kubanga nnabuulirwa ebifa gye muli, baganda bange, abo ab'omu nnyumba ya Kuloowe, ng'eriyo ennyombo mu mmwe.
12
Kye njogedde kye kino nti buli muntu mu mmwe ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” “nange wa Apolo;” “nange wa Keefa;” “nange wa Kristo.”
13
Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku lwammwe? Oba mwabatizibwa okuyingira mu linnya lya Pawulo?
14
Nneebaza Katonda kubanga sibatizanga muntu yenna mu mmwe, wabula Kulisupo ne Gaayo;
15
omuntu yenna alemenga okwogera nga mwabatizibwa okuyingira mu linnya lyange.
16
Era nnabatiza n'ennyumba ya Suteefana, nate simanyi nga nnabatiza omuntu omulala yenna.
17
Kubanga Kristo teyantuma kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: si mu magezi ga bigambo, omusalaba gwa Kristo gulemenga okuba ogw'obwereere.
18
Kubanga ekigambo eky'omusalaba bwe busirusiru eri abo abazikirira; naye eri ffe abalokolebwa ge maanyi ga Katonda.
19
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Ndizikiriza amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibuggyawo.”
20
Kale Omugezi aluwa? Omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi ow'omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag'ensi eno okuba obusirusiru?
21
Kubanga Katonda mu magezi ge, yalaba ng'ensi teyinza kumumanya ng'eyita amagezi gaayo, Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirisiru bw'okubuulira Enjiri okulokola abo abakkiriza.
22
Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani banoonya amagezi:
23
naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru;
24
naye eri abo abayite Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maanyi ga Katonda, era magezi ga Katonda.
25
Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26
Kubanga mutunuulire okuyitibwa kwammwe, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri si bangi abayitibwa, ab'amaanyi si bangi, ab'ekitiibwa si bangi;
27
naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, akwase abagezigezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ab'amaanyi ensonyi,
28
n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo;
29
waleme kubaawo muntu yenna eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda.
30
Naye ku bw'oyo mmwe muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gyetuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu, n'okutukuzibwa, n'okununulibwa:
31
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eyeenyumiriza, yeenyumiririzenga mu Mukama.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16