bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 3
1 Corinthians 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
1
Nange, ab'oluganda, ssaayinza kwogera nammwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.
2
Nnabanywesa mata, so si mmere; kubanga mwali temunnagiyinza; naye era ne kaakano temunnagiyinza;
3
kubanga mukyali ba mubiri, kubanga mu mmwe nga bwe mukyalimu obuggya n'okuyomba, temuli ba mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu?
4
Kubanga omuntu bw'ayogera nti, “Nze ndi wa Pawulo;” n'omulala nti, “Nze ndi wa Apolo;” nga temuli bantu buntu?
5
Kale Apolo kye ki? ne Pawulo kye ki? Baweereza buweereza ababakkirizisa; era buli muntu nga Mukama waffe bwe yamuwa.
6
Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza.
7
Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza.
8
Naye asiga n'afukirira benkanankana, naye buli muntu aliweebwa empeera okusinziira ku mulimu gw'aliba yakola.
9
Kubanga ffe tukolera wamu ne Katonda, ate mmwe muli nnimiro ya Katonda, muli nnyumba ya Katonda.
10
Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa, ng'omuzimbi omukugu ow'amagezi n'asima omusingi, naye kaakano omulala aguzimbako. Naye buli muntu yeegenderezenga bw'aguzimbako.
11
Kubanga tewali muntu ayinza kuteekawo musingi mulala wabula ogwo ogwateekebwawo, ye Yesu Kristo.
12
Naye omuntu yenna bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo omungi, emiti, essubi, ebisasiro;
13
omulimu ogwa buli muntu gulirabibwa, kubanga ku lunaku luli omuliro guligwolesa, n'omuliro gwennyini gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.
14
Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbako bwe gulisigalawo, aliweebwa empeera.
15
Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokebwa, alifiirwa; naye ye yennyini alirokoka; naye bw'ati, kuyita mu muliro.
16
Temumanyi nga muli Yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe?
17
Omuntu yenna bw'azikirizanga Yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikiriza oyo; kubanga Yeekaalu ya Katonda ntukuvu: ye mmwe.
18
Omuntu yenna teyeerimbanga. Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, alyoke afuuke omugezi.
19
Kubanga amagezi ag'omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwa nti, “Akwatira abagezi mu nkwe zaabwe.”
20
Era nate nti Mukama ategeera empaka ez'abagezi nga teziriimu.
21
Omuntu yenna kyavanga alema okwenyumiriza mu bantu. Kubanga byonna byammwe;
22
oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba ensi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebigenda okubaawo; byonna byammwe;
23
nammwe muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16