bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 5
1 Corinthians 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
1
Ddala kigambibwa nti mulimu obwenzi mu mmwe, ate obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawanga; omuntu okubeera ne muka kitaawe.
2
Nammwe mwegulumizizza! So temwandinakuwadde bunakuwazi? Oyo eyakola ekikolwa ekyo mu muggye wakati mu mmwe.
3
Newakubadde siri nammwe mu mubiri, ndi nammwe mu mwoyo, mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona bw'atyo.
4
Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye nange nga ndi nammwe mu mwoyo n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe,
5
mumuweeyo omuntu ng'oyo eri Setaani omubiri guzikirizibwe, omwoyo gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
6
Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7
Muggyemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga Kristo, y'endiga y'Okuyitako kwaffe eyattibwa.
8
Kale tufumbe embaga, eteriimu kizimbulukusa eky'edda, eky'ettima n'obubi, wabula tulye omugaati ogutalimu kizimbulukusa, ogwo bwesimbu n'amazima.
9
Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi;
10
so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi, kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi.
11
Naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.
12
Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Naye abo ab'omu nnyumba si be musaana okusalira omusango?
13
Naye ab'ebweru Katonda y'abasalira omusango. Omubi oyo mu muggye mu mmwe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16