bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 13
1 Corinthians 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
1
Bwe njogera n'ennimi z'abantu n'eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba nga ekide ekivuga, oba ekitaasa ekisaala.
2
Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, okunsobozesa n'okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba ssiri kintu.
3
Era bwe mpaayo bye nnina byonna eri abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye nga sirina kwagala, mba ssiriiko kye ngasizza.
4
Okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza,
5
tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu era tekusiba kibi ku mwoyo;
6
tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima;
7
kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kugumiikiriza byonna.
8
Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.
9
Kubanga tutegeerako kitundu, era ne bunnabbi bwaffe bwa kitundu:
10
naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo.
11
Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto.
12
Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulirabira ddala bulungi amaaso n'amaaso; kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala.
13
Naye kaakano waliwo ebintu bisatu: okukkiriza, okusuubira, okwagala, naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16