bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 10
1 Corinthians 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
1
Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja;
2
era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja;
3
era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga eky'okunywa ekimu eky'omwoyo:
4
kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo yali Kristo.
5
Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima, kubanga baazikiririzibwa mu ddungu.
6
Naye ebyo byali byakulabirako gyetuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba.
7
So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.”
8
Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bafa ku lunaku olumu abantu emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000).
9
Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta.
10
Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza.
11
Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe.
12
Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.
13
Tewali kukemebwa okubatuukako okutali kw'abantu; naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro, mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.
14
Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi.
15
Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera.
16
Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu okw'omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu okw'omubiri gwa Kristo?
17
Kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu, kubanga fenna tugabana omugaati gumu.
18
Mulabe Isiraeri ow'omubiri, abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto?
19
Kale kiki kye ngezaako okutegeeza? Ekiweebwa eri ekifaananyi kintu, oba ekifaananyi kintu?
20
Nedda. kye ntegeeza kye kino nti ab'amawanga bye bawaayo bawa eri baddayimooni so si eri Katonda, nange ssaagala mmwe okubeeranga abasseekimu ne baddayimooni.
21
Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya baddayimooni. Era temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya baddayimooni.
22
Tusaanye okunyiiza Mukama waffe? Ffe tumusinga amaanyi?
23
“Byonna birungi;” naye ebisaana si byonna. “ Byonna birungi,” naye ebizimba si byonna.
24
Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, afengayo ne ku bya munne.
25
Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo;
26
kubanga“ ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo.”
27
Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo.
28
Naye omuntu bw'abagambanga nti, “Kino kyaweereddwayo” okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo ababuulidde, n'olw'omwoyo,
29
bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala?
30
Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza?
31
Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.
32
Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda.
33
Era nga nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa bonna mu byonna, nga sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi, balyoke balokoke.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16