bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 4
1 Corinthians 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
1
Omuntu asaanidde atutwalenga ng'abaweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda.
2
Era kigwanira abawanika okubanga abeesigwa.
3
Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango.
4
Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe.
5
Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda.
6
Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala.
7
Kubanga akwawula ye ani? Era olina ki ky'otaaweebwa? Naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa?
8
Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe, era mubeera kufuga nnandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.
9
Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatuteeka ku nkomerero ng'abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuuka ekyerolerwa eri ensi, eri ba bamalayika n'eri abantu.
10
Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa.
11
Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe;
12
era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe, abatuvuma, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza;
13
bwe tuwaayirizibwa, twegayirira; twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi, empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.
14
Bino ssibiwandiika kubaswaza, wabula lwa kubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa.
15
Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza mitwalo mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze n'afuuka kitammwe mu Kristo Yesu olw'Enjiri.
16
Kyenva mbeegayirira mulabire ku nze.
17
Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, anaabajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa.
18
Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli.
19
Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si mu bigambo obugambo.
20
Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi.
21
Mwagalako ki? Njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu?
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16