bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 9
1 Corinthians 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
1
Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? mmwe temuli mulimu gwange mu Mukama waffe?
2
Oba nga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe; kubanga mmwe kabonero k'obutume bwange mu Mukama waffe.
3
Bwe mpoza bwe ntyo eri abo abankemereza.
4
Tetulina buyinza okulyanga n'okunywanga?
5
Tetulina buyinza okutwalanga omukazi ow'oluganda awamu naffe, era ng'abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe, ne Keefa bwe bakola?
6
Oba Balunabba nange, ffe ffekka tetulina buyinza kulekeraawo kukola kweyimirizaawo?
7
Ani akola ogw'obusirikale n'aba nga yeesasula empeera? Ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? Oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo?
8
Ebyo mbyogera ku bwange? Etteeka si bwe lyogera?
9
Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Togisibanga kamwa ente ng'ewuula.” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka?
10
Oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako.
11
Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri?
12
Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza byonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza Enjiri ya Kristo.
13
Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu Yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto?
14
Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira Enjiri baliisibwenga olw'Enjiri.
15
Naye nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssiwandiika bino biryoke binkolerwe, kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere.
16
Kubanga bwe mbuulira Enjiri, ekyo tekinneenyumiririzisa, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Ziba zinsanze, bwe ssibuulira njiri.
17
Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera, naye ne bwe mba nga ssikola na kwagala, nkikola lwa kubanga nnateresebwa omulimu ogwo.
18
Kale mpeera ki gye nnina? Empeera yange y'eno, kwe kubuulira Enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukozesa ddala obuyinza bwange mu Njiri.
19
Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi.
20
N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;
21
eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka.
22
Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.
23
Era nkola byonna olw'Enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.
24
Temumanyi ng'abadduka mu mbiro mu mpaka nga bonna badduka, naye afuna ekirabo abeera omu? Nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuweebwa ekirabo.
25
Buli muzanyi asaayo omwoyo okwefuga mu byonna nga alubirira okufuna engule eryonooneka, naye ffe tulifuna etayonooneka.
26
N'olwekyo ssidduka ng'atalina kigendererwa; nnwana naye si ng'akuba ebbanga.
27
Naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga; mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16