bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 7
1 Corinthians 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
1
Kaakano ku ebyo bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi.
2
Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne bba.
3
Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira ng'omufumbo, era n'omukazi asasulenga bw'atyo bba.
4
Kubanga omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula bba, era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.
5
Buli omu alemenga okumma munne, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbanga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.
6
Naye ekyo nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya, so siteeka tteeka.
7
Naye nnandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye ye, ekiva eri Katonda, omulala kino, n'omulala kiri.
8
Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze.
9
Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbirwenga: kubanga kye kirungi okufumbirwa okusinga okwakanga.
10
Naye abaamala okufumbiriganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, omukazi obutanobanga ku bba.
11
naye singa anoba, abeereraawo obutafumbirwa, oba si bwe kityo atabaganenga ne bba; n'omusajja tagobanga mukazi we.
12
Naye abalala mbagamba nze, si Mukama waffe, ow'oluganda yenna bw'abanga n'omukazi atakkiriza, omukazi nakkiriza okubeera naye, tamugobanga.
13
N'omukazi bw'abeeranga ne bba atali mukkiriza, naye bba nakkiriza okubeera naye, tamunobangako.
14
Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi we, n'omukazi atakkiriza atukuzibwa na bba, singa tekiri bwe kityo, abaana bammwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.
15
Naye atakkiriza bw'ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo ow'oluganda omusajja oba mukazi tali mu buddu mu bigambo ebiri bwe bityo, kubanga Katonda yatuyitira mirembe.
16
Kubanga, ggwe omukazi, omanyi otya nga tolirokola balo? Oba, ggwe omusajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo?
17
Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe yamugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga bw'atyo. Ekyo ky'ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna.
18
Omuntu yenna yayitibwa nga mukomole? Teyeggyangako bukomole bwe. Omuntu yenna yayitibwa nga si mukomole? Tanoonyanga kukomolebwa.
19
Okukomolwa si kintu, n'obutakomolwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwatanga ebiragiro bya Katonda.
20
Buli muntu abeerenga mu kuyitibwa kwe yayitirwamu.
21
Wayitibwa ng'oli muddu? Tokyeraliikiriranga, naye bwewabaawo omukisa ogw'okufuna eddembe, gukozese togufiirwa.
22
Kubanga mu Mukama waffe eyayitibwanga muddu, aweebwa Mukama waffe eddembe, bw'atyo eyayitibwanga wa ddembe afuuka muddu wa Kristo.
23
Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu b'abantu.
24
Ab'oluganda, buli muntu abeerenga mu mbeera gye yalimu, agibeeremu wamu ne Katonda.
25
Naye ku bikwata ku butafumbiriganwa, sirina kiragiro kya Mukama waffe, naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.
26
Nze ndowooza nga ekirungi olw'okubonaabona okwa kaakano, omuntu okubeera nga bw'ali.
27
Wasibibwa n'omukazi? Tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? Tonoonyanga mukazi.
28
Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'emitawaana gy'ensi gye nnandyagadde mwewale.
29
Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okuva kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina:
30
era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n'abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina;
31
n'abo abakozesa eby'omu nsi babe ng'abatabikozesa, kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.
32
Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe;
33
naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we.
34
Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo; naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga bba.
35
Njogedde ekyo olw'okubagasa mmwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga.
36
Naye omusajja bw'alowoozanga nti taakole bulungi obutawasa omuwala gw'ayogereza, ate nga tayinza kweziyiza, akolenga nga bw'ayagala, bafumbiriganwe, aba tayonoonye.
37
Naye oyo alina omutima omunywevu, n'asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa aba asazeewo bulungi.
38
Kale oyo awasa omuwala gw'ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y'aba asinze okukola obulungi.
39
Omukazi omufumbo asibibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw'ayagala, kyokka mu Mukama waffe.
40
Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali, nga nze bwe ndowooza, era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16