bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 14
1 Corinthians 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
1
Mugobererenga okwagala, era mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, n'okusingira ddala eky'okutegeeza eby'obunnabbi.
2
Kubanga ayogera mu nnimi tayogera na bantu; kubanga tewali ategeera by'ayogera, naye aba ayogera byama mu mwoyo.
3
Naye oyo ategeeza eby'obunnabbi atuusa ku bantu ebibazimba, ebibawa amaanyi era ebibagumya.
4
Ayogera ennimi aba yeezimba yekka; naye ategeeza eby'obunnabbi azimba ekkanisa.
5
Kale njagala mwenna mwogere mu nnimi, naye ekisingira ddala mutegeeze eby'obunnabbi, kubanga ategeeza eby'obunnabbi ye asinga obukulu ayogera mu nnimi, okuggyako nga waliwo avvuunula, ekkanisa eryoke ezimbibwe.
6
Naye kaakano, ab'oluganda, bwe ndijja gye muli ne njogera mu nnimi, ndibagasa ntya? Okuggyako nga mbaleetera ebyo ebimbikuliddwa, bye mmanyi, oba bunnabbi, oba kuyigiriza.
7
Era n'ebivuga ebitalina bulamu, nga endere, oba ennanga, bwe bitavuga mu maloboozi agategeerekeka, omuntu ategeera atya oluyimba olufuuyibwa oba olukubibwa?
8
Era singa eŋŋombe tevaamu ddoboozi litegeerekeka, ani alyeteekeraateekera okulwana?
9
Bwe kityo ne ku mmwe bwe kiri, singa omuntu ayogera mu nnimi ebitategeerekeka, oli aliyinza atya okutegeera ekyogeddwa? Aba ayogeredde mu bbanga.
10
Weewaawo waliwo mu nsi ennimi nnyingi, era tewali lutalina makulu.
11
Naye bwe ssimanya makulu ga lulimi mba mugwira eri ayogera, naye bwatyo gye ndi.
12
Bwe mutyo nammwe, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mufubenga nnyo okubeera mu bizimba ekkanisa.
13
Kale ayogera mu lulimi asabe okufuna amaanyi agaluvvuunula.
14
Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala.
15
Kale kiki kye mba nkola? Nnaasabanga n'omwoyo, era nnaasabanga n'amagezi; nnaayimbanga n'omwoyo, era nnaayimbanga n'amagezi.
16
Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, oyo atategedde ky'ogamba anaddangamu atya nti, “Amiina,” olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde?
17
Kubanga ggwe oyinza okuba nga weebaziza bulungi, naye omuntu omulala nga tazimbiddwa.
18
Nneebaza Katonda, kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna;
19
naye mu kkanisa njagala wakiri njogere ebigambo bitaano n'amagezi gange, nga njigiriza, okusinga ebigambo omutwalo mu lulimi olutategeerekeka.
20
Ab'oluganda, temubanga baana bato mu kulowooza, mube bato mu bubi, naye mu kulowooza mube bakulu.
21
Kyawandiikibwa mu mateeka nti, “Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannamawanga; era newakubadde bwe kityo tebalimpulira, bw'ayogera Mukama”
22
N'olwekyo ennimi kyeziva zibeera akabonero, si eri abo abakkiriza, wabula eri abatakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw'abo abakkiriza.
23
Kale ekkanisa yonna bw'eba ng'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne boogera ennimi, ne wayingira ab'ebweru oba abatakkiriza, tebaligamba nti mulaluse?
24
Naye singa bonna bategeeza eby'obunnabbi, ne wayingira atakkiriza oba ow'ebweru, ebyogerwa bijja kumuleetera okwenenya, nga mu byonna yeesalira omusango.
25
Ebyama eby'omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke avuuname ku ttaka, asinze Katonda, ng'ayogera nga Katonda bwali mu mmwe ddala.
26
Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza; byonna bikolebwenga olw'okuzimba.
27
Singa wabaawo muntu ayogera mu nnimi, boogerenga babiri oba obutasukka basatu, naye mu mpalo, era omu avvuunulenga;
28
naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye ne Katonda.
29
Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, ng'abalala bafumiitiriza ku ebyo ebyogerwa.
30
Naye singa omu ku batudde abikkulirwa ekigambo, eyasoose asirikenga.
31
Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga;
32
n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi.
33
Kubanga Katonda si wa luyoogaano, naye wa mirembe; nga bwe kiri mu kkanisa ez'abatukuvu zonna.
34
Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebakkirizibwa kwogera; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe googera.
35
Era bwe baagalanga okuyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa.
36
Kiki! ekigambo kya Katonda kyatandikira mu mmwe oba kyatuuka eri mmwe mwekka?
37
Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe.
38
Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera.
39
Kale ab'oluganda, mwegombenga okutegeeza eby'obunnabbi, era temuziyizanga kwogeranga mu nnimi.
40
Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16