bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 6
1 Corinthians 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
1
Omuntu yenna mu mmwe bw'aba n'ensonga ku munne, ayaŋŋaanga okuwoleza ensonga abatali batuukirivu, so si eri abatukuvu?
2
Oba temumanyi ng'abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale oba nga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga entono eziri mu mmwe?
3
Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango? Tulemwa tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno?
4
Kale bwe muba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, lwaki mugitwala eri abo abanyoomebwa mu kkanisa?
5
Njogera kino kubaswaza. Ddala mu mmwe temuyinza kuzuuka muntu mugezi, ayinza okusalira baganda be ensonga,
6
naye ow'oluganda awoze n'ow'oluganda, era ne mu maaso gaabo abatali bakkiriza?
7
Naye era bwe mutyo mumaze okubaako akabi, kubanga mulina emisango mwekka na mwekka. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
8
Naye mmwe mwennyini mukola bubi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda.
9
Oba temumanyi ng'abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga,
10
newakubadde ababbi, newakubadde abeegombi, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
11
Era abamu ku mmwe mwali ng'abo, era mwanaazibwa, era mwatukuzibwa, era mwaweebwa obutuukirivu olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waffe.
12
“Ebintu byonna birungi gye ndi,” naye byonna tebingasa. “Byonna birungi gye ndi,” naye nze sigenda kufugibwanga kintu kyonna.
13
“Eby'okulya bya lubuto, n'olubuto lwa bya kulya,” naye byombi Katonda alibiggyawo. Naye omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama waffe; ne Mukama waffe avunaana omubiri.
14
Era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.
15
Temumanyi ng'emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Kale nzirirenga ebitundu bya Kristo mbifuule bitundu by'omwenzi? Kitalo!
16
Oba temumanyi ng'eyeegatta n'omwenzi gwe mubiri gumu? Kubanga ayogera nti, “Bombi banaafuuka omubiri gumu.”
17
Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
18
Mwewalenga obwenzi. Buli kibi kyonna omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye.
19
Oba temumanyi ng'omubiri gwammwe ye Yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu mmwe, gwe mulina eyava eri Katonda? Nammwe temuli ku bwammwe;
20
kubanga mwagulibwa na muwendo, kale mugulumizenga Katonda mu mubiri gwammwe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16