bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 12
1 Corinthians 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
1
Kaakano ku bikwata ku birabo eby'omwoyo, ab'oluganda, ssaagala mmwe obutabitegeera.
2
Mumanyi bwe mwali ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitoogera, nga mukyamizibwa mu ngeri yonna.
3
Kyenva mbategeeza tewali n'omu ayogera mu Mwoyo gwa Katonda agamba nti, “Yesu akolimiddwa;” era tewali n'omu ayinza okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula mu Mwoyo Omutukuvu.
4
Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Omwoyo ali omu.
5
Era waliwo engeri nnyingi ez'okuweereza, era Mukama waffe ali omu.
6
Era waliwo okukola kwa ngeri nnyingi, naye Katonda ali omu, akola byonna mu bonna.
7
Omwoyo alabikira mu buli muntu olw'okugasa bonna.
8
Omwoyo awa omu ekigambo eky'amagezi; n'omulala Omwoyo oyo y'omu n'amuwa ekigambo eky'okutegeera.
9
Omulala Omwoyo oyo y'omu n'amuwa okukkiriza, n'omulala n'amuwa ebirabo eby'okuwonyanga.
10
Omulala n'amuwa okukolanga eby'amagero; n'omulala okubuuliranga; n'omulala okwawulanga emyoyo; omulala okwogeranga ennimi; n'omulala okuvvuunulanga ennimi;
11
naye ebyo byonna Omwoyo oyo omu ye abikola, ng'agabira buli muntu kinnoomu nga ye bw'ayagala.
12
Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne guba n'ebitundu ebingi, n'ebitundu byonna eby'omubiri, newakubadde nga bingi, gwe mubiri gumu; era ne Kristo bw'atyo.
13
Kubanga mu Mwoyo omu fenna twabatizibwa okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baddu oba ba ddembe; fenna ne tunywesebwa mu Mwoyo omu.
14
Kubanga n'omubiri si kitundu kimu, naye bingi.
15
Ekigere bwe kyogera nti, “Kubanga siri mukono, n'olwekyo, siri kitundu kya mubiri;” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri.
16
Era okutu bwe kwogera nti, “Kubanga siri liiso, n'olwekyo siri kitundu kya mubiri;” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri.
17
Omubiri gwonna singa liiso, okuwulira kwandibadde wa? Gwonna singa kuwulira, okuwunyiriza kwandibadde wa?
18
Naye kaakano Katonda yassaawo ebitundu buli kinnakimu mu mubiri, nga bwe yayagala.
19
Era byonna singa kyali kitundu kimu, omubiri gwandibadde wa?
20
Naye kaakano ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu.
21
N'eriiso teriyinza kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba omutwe okugamba ebigere nti, “Mmwe sibeetaaga.”
22
Naye, ekisinga ennyo, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubeera ebinafu byetaagibwa,
23
n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutaba na kitiibwa nnyo bye twambaza ekitiibwa ekisinga obungi, n'ebitundu byaffe ebitali birungi bye tusinga okulabirira;
24
naye ebitundu byaffe ebisinga obulungi kye biteetaaga. Bwatyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n'abiwa ekitiibwa ekisinga obungi;
25
walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka.
26
Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonna bibonerabonera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bisanyukira wamu nakyo.
27
Naye mmwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu.
28
Era Katonda yassaawo mu kkanisa, okusooka batume, abokubiri bannabbi, ab'okusatu bayigiriza, ne kuddako abakola eby'amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, aboogezi b'ennimi.
29
Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola eby'amagero?
30
Bonna balina ebirabo eby'okuwonyanga? Bonna boogera ennimi? Bonna baavvuunula?
31
Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era kambalage ekkubo erisinga ennyo obulungi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16