bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 16
1 Corinthians 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
1
Ku bikwata ku kukuŋŋaanyiza ebintu abatukuvu, nga bwe nnalagira ekkanisa ez'e Ggalatiya, nammwe mukolenga bwe mutyo.
2
Ku lunaku olusooka mu ssabbiiti buli muntu mu mmwe abeeko kyatereka ewuwe nga asinziira ku busobozi bwe, ebintu bireme okukuŋŋaanyizibwa lwe ndijja.
3
Era bwe ndituuka be mulisiima bendiwa ebbaluwa ne mbatuma okutwala ekisa kyammwe mu Yerusaalemi.
4
Era bwe kirirabika nga kiryetaagisa nange okugenda, baligenda nange.
5
Ŋŋenda kujja gye muli bwe ndiba nga mmaze okuyita mu Makedoni; kubanga ŋŋenda kuyita mu Makedoni.
6
Oboolyawo ndibeera nammwe, oba n'okumala ndimalayo nammwe ebiseera eby'obutiti byonna, mmwe mulyoke munsibirire gye ndigenda yonna.
7
Kubanga ssaagala kubalaba nga mpita buyisi, naye nsuubira okumala nammwe ekiseera ekiwerako, Mukama waffe bw'alikkiriza.
8
Naye nja kusigala mu Efeso okutuusa ku Pentekoote,
9
kubanga oluggi olunene era olw'emirimu emingi lunziguliddwawo, era n'abalabe bangi.
10
Naye Timoseewo bw'alijja, mulabe nga mumuyamba abeere nammwe awatali kutya; kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe era nga nze.
11
Kale omuntu yenna tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, ajje gye ndi: kubanga nsuubira okumulaba awamu n'ab'oluganda.
12
Naye ku bya Apolo ow'oluganda, nnamwegayirira nnyo okujja gye muli awamu n'ab'oluganda, n'atayagalira ddala kujja mu kiseera kino; naye alijja bw'alifuna ebbanga.
13
Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga bazira, ba maanyi.
14
Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala.
15
Naye mbeegayirira, ab'oluganda mumanyi ennyumba ya Suteefana, be basooka okukkiriza mu Akaya, era nga beeteeseteese okuweereza abatukuvu,
16
nammwe muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu afuba okukolera awamu naffe.
17
Era nsanyukira okujja kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyabula ku lwammwe baabituukiriza.
18
Kubanga baawummuza omwoyo gwange n'ogwammwe, kale mukkirizenga abali ng'abo.
19
Ekkanisa ez'omu Asiya zibalamusizza. Akula ne Pulisika babalamusizza nnyo mu Mukama waffe, n'ekkanisa eri mu nnyumba yaabwe.
20
Ab'oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
21
Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno, n'omukono gwange.
22
Omuntu yenna bw'atayagalanga Mukama waffe, akolimirwenga. Mukama waffe ajja.
23
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
24
Okwagala kwange kubeerenga nammwe mwenna mu Kristo Yesu. Amiina.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16