bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 11
1 Corinthians 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
1
Mundabireko, nga nze bwe ndabira ku Kristo.
2
Mbatendereza kubanga munjijukira mu byonna, era munyweza bye mwaweebwa nga bwe nnabibawa.
3
Naye njagala mmwe mutegeere ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n'omutwe gwa Kristo ye Katonda.
4
Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe.
5
Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza bba, kubanga aba ng'amwereddwa.
6
Oba nga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale asalengako enviiri ze, naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwako enviiri oba okuzimwako, agubikkengako.
7
Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkanga ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye kye kitiibwa ky'omusajja.
8
Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja.
9
Era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja.
10
Kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika.
11
Kyokka mu Mukama waffe, omukazi tabaawo awatali musajja, era n'omusajja tabaawo awatali mukazi,
12
kubanga ng'omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda.
13
Kale nammwe musaalewo, oba nga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe?
14
Obuzaaliranwa bwokka tebubayigiriza nga omusajja bw'akuza enviiri zimuswaza?
15
Naye omukazi bw'akuza enviiri, kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo.
16
Naye omuntu yenna bw'aba ng'ayagala okuleeta empaka, ffe tetulina mpisa ng'eyo, newakubadde ekkanisa za Katonda.
17
Naye mu bino bye ŋŋenda okubagamba temuli kya kubatendereza, kubanga bwe mukuŋŋaana ebivaamu biba bibi, si birungi.
18
Kubanga ekisookera ddala, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe, era nzikiriza nga kiyinza okuba nga kiri bwe kityo.
19
Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubaawo, abasiimibwa balyoke balabikenga mu mmwe.
20
Bwe mukuŋŋaana, ekyo kye mulya kiba tekikyali mmere ya Mukama waffe:
21
kubanga bwe muba mulya buli muntu alya ku lulwe, talinda banne, omu asigala akyali muyala, ate omulala ng'atamidde.
22
Kiki ekyo? Temulina nnyumba ze muyinza kuliiramu n'okunyweramu? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina kintu? Nnaabagamba ntya? Nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza.
23
Kubanga Mukama kye yampa, kye nnabayigiriza nti: Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati;
24
ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agamba nti, “ Mutoole, mulye; guno gwe Mubiri gwange oguweereddwayo ku lwammwe, mukolenga bwe mutyo olw'okunjijukiranga nze.”
25
Era n'eku kikompe bw'atyo, bwe baamala okulya, n'agamba nti, “ Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaankinywangako, olw'okunjijukiranga nze.”
26
Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja.
27
Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati oba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde.
28
Naye omuntu yeekeberenga yekka alyoke alyenga ku mugaati bw'atyo, era anywenga ne ku kikompe.
29
Kubanga buli alya era anywa nga tategeera makulu ga mubiri, aba yeesalira yekka omusango okumusinga.
30
Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu abangi abanafu n'abalwadde, era bangi na bafudde.
31
Naye singa tusooka okwesalira omusango fekka, tetwandisaliddwa musango.
32
Naye Mukama bwa tusalira omusango, atukangavvula, tuleme okusingibwa omusango awamu n'ensi.
33
Kale, baganda bange, bwe mukuŋŋaananga okulya, mulindaganenga.
34
Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eka; okukuŋŋaana kwammwe kulemenga okuba okw'ensobi. N'ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16