bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 15
1 Corinthians 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
1
Kaakano, ab'oluganda, mbajjukiza bye nnasinzirako okubabuulira Enjiri, gye mwafuna, gye muyimiriddemu,
2
gye mulokokeramu, singa muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere.
3
Kubanga nnabategeeza ekigambo ekikulu ennyo nange kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba,
4
nga yaziikibwa, nga yazuukizibwa ku lunaku olwokusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba,
5
era nga yalabikira Keefa, n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri;
6
n'alyoka alabikira ab'oluganda abasukka mu bikumi ebitaano (500) omulundi gumu, era bangi ku bo abakyali abalamu newakubadde nga abamu baafa.
7
Olwo n'alyoka alabikira Yakobo ate n'alyoka alabikira abatume bonna.
8
Oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole.
9
Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda.
10
Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi, n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere. Kubanga nnakola emirimu mingi okusinga bonna, naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange.
11
Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
12
Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, ate lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kw'abafu?
13
Naye oba nga tewali kuzuukira kw'abafu, era ne Kristo teyazuukizibwa;
14
era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu.
15
Era naye tulabika ng'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo, gw'ataazuukiza, oba ng'abafu tebazuukizibwa.
16
Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa.
17
Oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe.
18
Era n'abo abaafiira mu Kristo baazikirira.
19
Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n'essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.
20
Naye kituufu Kristo yazuukizibwa mu bafu, ebibala ebibereberye eby'abo abaafa.
21
Kubanga okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n'okuzuukira kw'abafu kwaleetebwa muntu.
22
Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.
23
Naye buli muntu mu kifo kye ye, Kristo ye yasooka, oluvannyuma mu kujja kwe ababe baddeko.
24
Olwo enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza.
25
Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye.
26
Omulabe alisembayo okuzikirizibwa kwe kufa.
27
Kubanga “Katonda atadde ebintu byonna wansi w'ebigere bye.” Naye bwe kigambibwa nti, “ Ebintu byonna bisiddwa wansi w'ebigere bye.” Kiba kitegeeza nti ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.
28
Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.
29
Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? Oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo?
30
Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera?
31
Ab'oluganda, mpakanya, okwenyumiriza kwe nnina mu mwe, ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe, nange nfa buli lunaku.
32
Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa,“ tulye tunywe, kubanga tufa enkya.”
33
Temulimbibwanga, “Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”
34
Muddemu amagezi, temuddamu kwonoona, kubanga abalala tebamanyi Katonda, njogedde kubakwasa nsonyi.
35
Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “ Abafu bazuukizibwa batya? Era mubiri ki gwe bajja nagwo?”
36
Musirusiru ggwe, ensigo gy'osiga temeruka nga tefudde,
37
ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala;
38
naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka.
39
Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja.
40
Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi, naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala.
41
Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala, kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa.
42
Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda:
43
gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi,
44
gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo.
45
Era bwe kityo kyawandiikibwa nti, “Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu.” Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.
46
Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo.
47
Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka, omuntu ow'okubiri yava mu ggulu.
48
Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bali bwe batyo, era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali, era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo.
49
Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu.
50
Naye kino kye ŋŋamba, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda; so okuvunda tekusikira butavunda.
51
Laba, kambabuulire ekyama: Ffenna tetulifa, naye fenna tulifuusibwa,
52
mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.
53
Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa.
54
Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti, “Okufa kumiriddwa mu kuwangula.
55
Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa?”
56
Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka:
57
naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58
Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16