bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Corinthians 8
1 Corinthians 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
1
Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga “tulina fenna okutegeera.” Okutegeera kuleeta okwekulumbaza, naye okwagala kuzimba.
2
Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, aba tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera;
3
naye omuntu bw'ayagala Katonda, amanyibwa Katonda.
4
Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi nti “ng'ekifaananyi si kintu mu nsi,” era nga“ tewali Katonda mulala wabula omu.”
5
Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo“ bakatonda” abangi “n'abaami” abangi;
6
naye gyetuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe.
7
Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ekiweereddwa eri ekifaananyi, kubanga omwoyo gwabwe munafu, gusigala mu kwonoona.
8
Naye eky'okulya tekitusiimisa eri Katonda, era bwe tutalya tetulina kye tusubwa, era bwe tulya tetulina kyetweyongerako.
9
Naye mwekuumenga eddembe lyammwe lireme okufuuka enkonge eri abanafu.
10
Kubanga omuntu omunafu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi olya, omwoyo gwe bwe guba omunafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi?
11
Kale ow'oluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, abula olw'okutegeera kwo.
12
Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda, era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo.
13
Kale, oba ng'eky'okulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16