bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 10
Acts 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
1
Waaliwo omusajja mu Kayisaliya, erinnya lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayitibwanga Ekitaliano,
2
omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, era ng'asaba Katonda buli kiseera.
3
Mu ssaawa ng'ey'omwenda ey'olunaku n'alabira ddala mu kwolesebwa malayika wa Katonda ng'ayingira gyali n'amuyita nti, “ Koluneeriyo.”
4
Koluneeriyo n'amutunuulira enkaliriza ng'atidde nnyo. N'agamba nti, “Kiki, Mukama wange?” N'amuddamu nti, “ Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye ng'ekijjukizo mu maaso ga Katonda.
5
Era kaakano tuma abantu e Yopa, oyiteyo omuntu Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero:
6
oyo yakyazibwa omuntu Simooni, omuwazi w'amaliba, n'ennyumba ye eri ku lubalama lw'ennyanja.”
7
Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga bulijjo;
8
bwe yamala okubategeeza ebigambo byonna n'abatuma e Yopa.
9
Awo ku lunaku olwokubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga.
10
N'alumwa enjala n'ayagala okulya. Naye bwe baali nga bajjula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa;
11
n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku nsonda zaayo ennya, n'essibwa wansi:
12
ng'erimu ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n'ebyewalula eby'oku nsi n'ennyonyi ez'omu bbanga.
13
N'awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Golokoka, Peetero, osale olye.”
14
Naye Peetero n'addamu nti, “ Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”
15
Eddoboozi nate ne lijja gy'ali omulundi ogwokubiri nti, “ Ekyo Katonda kyalongooseza tokiyita kitali kirongoofu.”
16
Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangwago ekintu ne kizzibwayo mu ggulu.
17
Awo Peetero bwe yali ng'akyebuuza munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi,
18
ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero, yakyazibwa omwo.
19
Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti, “ Laba, abantu basatu bakunoonya.
20
Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye.”
21
Peetero n'akka wansi n'agenda eri abasajja n'agamba nti, “Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?”
22
Ne bagamba nti, “Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.”
23
Awo n'abayingiza n'abaaniriza. Awo ku lunaku olwokubiri Peetero n'agolokoka n'asitula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye.
24
Awo ku lunaku olwokubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo.
25
Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira mu nnyumba, Koluneeriyo n'agwa wansi ku bigere bya Peetero, n'amusinza.
26
Naye Peetero n'amuyimusa n'amugamba nti, “ Yimirira, nange ndi muntu buntu.”
27
Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye,
28
n'abagamba nti, “Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita omuntu yenna ow'omuzizo oba omubi.
29
Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyenva mbuuza nti Kiki ekimpisizza?”
30
Awo Koluneeriyo n'agamba nti, “Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n'ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimasamasa,
31
n'agamba nti, ‘Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda.
32
Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye eryokubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n'ennyanja.’
33
Awo amangwago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.”
34
Awo Peetero n'atandika okwogera n'agamba nti: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu:
35
naye mu buli ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza.
36
Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo, ye Mukama w'ebintu byonna,
37
mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana,
38
Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye.
39
Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti.
40
Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olwokusatu n'amulaga mu lwatu,
41
si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu.
42
N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango w'abalamu n'abafu.
43
Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.”
44
Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo.
45
Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku b'amawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa.
46
Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'abuuza nti,
47
“ Waliwo omuntu yenna ayinza okugaana abantu bano okubatizibwa n'amazzi, abafunye Omwoyo Omutukuvu nga ffe?”
48
N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Ne bamusaba agira abeera nabo okumalayo ko ennaku.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28