bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 24
Acts 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
1
Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, kabona asinga obukulu n'atuuka e Kayisaliya ng'ali wamu n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi erinnya lye Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo ebivunaanibwa Pawulo.
2
Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n'atandika okumuloopa ng'agamba nti: “Oweekitibwa Ferikisi, tufunye emirembe mingi eri ggwe, n'ebintu bingi ebirongooseddwa mu ggwanga lino olw'obufuzi bwo obulungi.
3
Mu ngeri zonna era ne mu bifo byonna tubikkiriza n'okwebaza kwonna.
4
Naye saagala kwongera kukukooya, nkwegayiridde mu kisa kyo, otuweeyo akaseera katono owulirize ensonga zaffe.
5
Tulabye omusajja ono nga wamutawaana nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, ate era ye mukulu w'ekibiina ky'Abanazaaleesi.
6
Yagezaako okwonoona Yeekaalu: ne tumukwata, era twali tugenda omusalira omusango ng'amateeka gaffe bwe gali:
7
naye Lusiya, omukulu w'abaserikale n'ajja n'atumuggyako n'amaanyi mangi,
8
n'alagira abamuvunaana okujja gy'oli. Bw'onoomwebuuliza wekka onooyinza okutegeera bino byonna bye tumuvunaana.”
9
Era n'Abayudaaya abalala ne bongereza kw'ebyo, nga bagamba nti bwe bityo bwe biri.
10
Awo owessaza bwe yawenya ku Pawulo okwogera, Pawulo n'addamu nti: “Kubanga mmanyi ng'osaze emisango gye ggwanga lino okumala emyaka mingi, ŋŋenda okuwoza n'omwoyo omugumu.
11
kubanga oyinza okutegeera ng'ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nzijja mu Yerusaalemi okusinza,
12
abo tebansanganga mu Yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesa ekibiina newakubadde mu kkuŋŋaaniro newakubadde mu kibuga.
13
So tebayinza kukakasa w'oli ebigambo bye banvunaana kaakano.
14
Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita Enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi;
15
nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.
16
Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna.
17
Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo:
18
bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu Yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano,
19
abo basaanye babeere wano mu maaso go bannumirize oba nga balina ekigambo ku nze.
20
Oba bano boogere bennyini ekibi kye baalaba bwe nnayimirira mu lukiiko
21
mpozzi kino kyokka kye n'ayogera nti, ‘ Olw'okubanga nzikiririza mu kuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango mu maaso gammwe ku lunaku luno.’ ”
22
Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti, “Lusiya, omukulu w'abasserikale bwalijja ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”
23
N'alagira omwami n'okumuzaayo mu kkomera naye ng'amulekedde eddembe, n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye okumuweereza.
24
Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n'ajja ne mukazi we Dulusira, Omuyudaaya, n'atumya Pawulo ne bamuwuliriza ku bigambo eby'okukkiriza Kristo Yesu.
25
Bwe yali ng'ategeeza eby'obutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n'ebbanga, ndikuyita.
26
Era yali asuubira Pawulo okumuwa sente, kyeyavanga amutumyanga emirundi mingi naanyumyanga naye.
27
Naye bwe waayitawo emyaka ebiri, Ferikisi n'asikirwa Polukiyo Fesuto. Ferikisi olw'okwagala okusiimibwa Abayudaaya, n'aleka Pawulo nga musibe mu kkomera.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28