bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 21
Acts 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
1
Awo olwatuuka bwe twamala okwawukana nabo ne tusaabala butereevu okutuuka e Koosi, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala.
2
Bwe twasanga ekyombo nga kiwunguka okugenda e Foyiniiki, ne tusaabala ne tugenda.
3
Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okutikkulira ebintu.
4
Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi.
5
Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako wamu n'abakyala baabwe n'abaana baabwe, okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba;
6
ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye bo ne baddayo ewaabwe.
7
Naffe bwe twava e Ttuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tulamusa ab'oluganda ne tumala nabo olunaku lumu.
8
Enkeera ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo, omubuulizi w'Enjiri, omu ku bali omusanvu, ne tubeera naye.
9
Yalina abaana be abawala bana abaali batannafumbirwa nga boogera eby'obunnabbi.
10
Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo.
11
N'ajja gyetuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.”
12
Bwe twawulira ebyo, ffe era n'abantu ab'omu kitundu ekyo ne tumwegayirira aleme okulinnya mu Yerusaalemi.
13
Awo Pawulo n'alyoka addamu nti, “Mukola ki ekyo? Okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu.”
14
Bwe twalemwa okumukkirizisa ne tumuleka, ne tugamba nti, “Mukama waffe ky'ayagala kikolebwe.”
15
Awo oluvannyuma lw'ennaku ezo ne tusitula emigugu gyaffe ne tulinnya e Yerusaalemi.
16
Abamu ku bayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni ow'e Kupulo omu ku bayigirizwa abaasooka.
17
Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batwaniriza n'essanyu lingi nnyo.
18
Ku lunaku olwokubiri Pawulo wamu naffe ne tugenda ewa Yakobo; era n'abakadde bonna baaliwo.
19
Bwe yamala okubalamusa n'ababuulira kinnakimu byonna Katonda bye yakola mu baamawanga mu kuweereza kwe.
20
Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti, “ Olaba, ow'oluganda, abantu nkumi na nkumi abakkiriza mu Bayudaaya, nabo bonna bagala okukwata obutiribiri amateeka,
21
abo babuulirwa ebigambo byo nti ggwe oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu b'amawanga okuleka amateeka ga Musa, baleme okukomolanga abaana baabwe newakubadde okutambuliranga mu mpisa z'Ekiyudaaya.
22
Kale kiki ekiba kikolebwa? Awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze.
23
Kale kola nga bwe tukugamba: tulina abasajja bana abali ku kirayiro;
24
genda nabo otukuzibwe wamu nabo, obasasulire ensimbi ez'okumwa emitwe gyabwe. Kale bonna banaategeera ng'ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng'okwata amateeka.
25
Naye ku nsonga z'Abamawanga abakkiriza, twabawandiikira nga tubagamba nti beekuumenga ebintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiddwa n'obwenzi.”
26
Awo Pawulo n'atwala abasajja abo, ku lunaku olwaddirira n'atukuzibwa wamu nabo. N'ayingira mu Yeekaalu okutegeeza ennaku ez'okutukuza we ziriggweerako, olwo buli omu atwaleyo ekiweebwayo kye.
27
Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okugwako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya abalaba Pawulo mu Yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata,
28
nga boogerera waggulu nti, “Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye musajja agenda ayigiriza obubi mu buli kifo ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu Yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu.”
29
Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bategeera nti Pawulo amuleese mu Yeekaalu.
30
Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mangu, ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi.
31
Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde.
32
Amangwago n'atwala basserikale n'abaami n'aserengeta mangu gye baali. Awo bwe baalaba omwami omukulu n'abasserikale ne balekerawo okukuba Pawulo.
33
Awo omukulu w'abaserikale n'alyoka asembera n'akwata Pawulo, n'alagira okumusibya enjegere bbiri; n'abuuza nti ye ani, ne ky'akoze ki.
34
Abamu mu kibiina ne bamuddamu nga boogerera waggulu ng'abamu bagamba kino n'abalala nga bagamba kiri, n'atayinza kutegeera mazima olw'okuleekaana, n'alagira okumutwala mu nkambi.
35
Bwe yatuuka ku madaala, n'alyoka asitulibwa abasserikale kubanga abantu baali bayitiridde obukambwe;
36
kubanga ekibiina ky'abantu kyali kibagoberera nga boogerera waggulu nti, “Mumutte! Mumutte.”
37
Awo Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu nkambi n'agamba omukulu w'abasserikale nti, “ Okkiriza mbeeko kye nkubuulira?” N'amuddamu nti, “ Omanyi Oluyonaani?”
38
Si ggwe Mumisiri, mu nnaku eziyise eyajeemesa abantu, n'otwala abatemu enkumi ennya (4,000) mu ddungu?
39
Naye Pawulo n'addamu nti, Nze ndi Muyudaaya, ow'omu kibuga Taluso eky'omu Kirukiya, omutuuze mu kibuga ekitannyoomebwa. Nkwegayiridde, nzikiriza njogere eri abantu.
40
Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala n'awenya ku bantu, bwe baamala okusiriikira ddala, n'ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng'agamba nti:
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28