bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 23
Acts 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
1
Pawulo n'atunuulira ab'olukiiko enkaliriza, n'agamba nti, “ Ab'oluganda, nze ntambulidde mu maaso ga Katonda n'obwegendereza okutuusiza ddala ku lunaku luno.”
2
Ananiya, kabona asinga obukulu, n'alagira abo abamuyimiridde okumpi okumukuba oluyi ku ttama
3
Pawulo n'alyoka amugamba nti, “Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?”
4
Abaali bamuyimiridde okumpi ne bagamba nti, “Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda?”
5
Pawulo n'agamba nti, “Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘ toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo.’ ”
6
Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu ky'Abasaddukaayo n'eky'okubiri ky'Abafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti, “ Ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo, mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.”
7
Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba wakati w'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu.
8
Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newakubadde bamalayika, newakubadde omwoyo, naye Abafalisaayo ebyo byonna babikkirizza.
9
Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti, “Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba omwoyo oba nga malayika yayogera naye?”
10
Bwe waabaawo okuyomba okungi, omukulu w'abasserikale n'atya ng'alaba Pawulo baagala kumuyuzayuzamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo n'amaanyi bamutwale mu nkambi.
11
Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti, “Guma omwoyo: kubanga nga bw'onjulidde wano mu Yerusaalemi, era kikugwanidde n'okunjulira bw'otyo ne Ruumi.”
12
Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti, tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo.
13
Abeekobaana bwe batyo ne basukka ana (40).
14
Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti, “ Twerayiridde obutakomba ku kantu konna wabula nga tumaze kutta Pawulo.
15
Kale kaakano mmwe n'olukiiko mugambe omukulu w'abasserikale amuleete wansi gye muli ng'abaagala okwongera okumanya amazima g'ebigambo bye, naffe, tunnamutta nga tanatuusibwa eyo.”
16
Naye mutabani wa mwannyina wa Pawulo n'awulira olukwe luno, n'ajja n'ayingira mu nkambi, n'abuulira Pawulo.
17
Pawulo n'ayita omu ku basserikale n'amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuserikale omukulu, kubanga alina ekigambo kyayagala okumubuulira.”
18
Awo oli n'amutwala n'amuleeta eri omukulu w'abaserikale n'agamba nti Pawulo omusibe yampise n'anneegayirira okukuleetera omulenzi ono, ng'alina ky'agenda okukubuulira.
19
Omukulu w'abaserikale n'amukwata ku mukono ne yeeyawula mu kyama n'amubuuza nti, “Bigambo ki by'olina okumbuulira?”
20
N'amugamba nti, “Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye.
21
Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe nga ana (40) bamuteeze nga berayiridde obutalya newakubadde okunywa ekintu kyonna wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okukkiriza.”
22
Awo omukulu w'abaserikale n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti, “ Tobuulirako omuntu nti ombuulidde ebigambo bino.”
23
Awo n'ayita babiri ku basserikale abaduumizi n'abagamba nti, Mutegeke abasserikale bibiri (200), n'abeebagala embalaasi nsanvu (70), n'ab'amafumu bibiri (200) bagende e Kayisaliya, mu ssaawa ey'okusatu ey'ekiro;
24
era mutegekewo n'embalaasi Pawulo gyanagenderako bamutwale mirembe okumutuusa eri Ferikisi owessaza.
25
N'awandiika ebbaluwa ku nsonga eno nti:
26
“Kulawudiyo Lusiya eri Ow'ekitiibwa owessaza Ferikisi, nkulamusizza.
27
Omusajja ono yakwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne ŋŋenda n'abasserikale gye baali ne mbamuggyako, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi.
28
Era bwe nnayagala okutegeera ensonga gye bamulanze okumuloopa, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe.
29
Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa.
30
Bwe bambuulira nti waliwo olukwe olw'okumutta, kwe kusalawo amangwago okumuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okuleeta ensonga zaabwe gy'oli.”
31
Awo basserikale nga bwe baalagirwa ne batwala Pawulo mu kiro ne batuuka mu Antipatuli.
32
Enkeera ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda ne Pawulo okutuuka e Kayisaliya, abalala ne baddayo mu nkambi.
33
Abo bwe baatuuka e Kayisaliya ne bawa ebbaluwa owessaza era ne bamwanjulira Pawulo.
34
Bwe yamala okugisoma, n'abuuza essaza gye yava; bwe yabuulirwa nti yava mu Kirukiya,
35
n'agamba nti, “ Ndikuwuliriza abakuloopa bwe baliba bazze.” N'alagira okumukuumira mu lubiri lwa Kerode.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28