bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 17
Acts 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
1
Awo batambula ne bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
2
Awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, n'amala essabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa,
3
ng'annyonnyola era ng'ategeeza nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti, “ Oyo Yesu nze gwe mbabuulira, ye Kristo.”
4
Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene wamu n'abakazi abakulu mu kibuga ekyo bangi.
5
Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya ne batandika akegugungo mu kibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni nga banoonyamu Pawulo ne Siira babatwale mu maaso g'abantu.
6
Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu ne babatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti, “Bano abavuunika ensi bazze ne wano;
7
ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti, Waliwo kabaka omulala, Yesu.”
8
Ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo ne basasamala.
9
Bwe baamala okweyimiriza Yasooni ne banne ne babata.
10
Amangwago ab'oluganda ne basindika kiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
11
Naye Abayudaaya b'omu Beroya baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.
12
Abayudaaya bangi ne bakkiriza, era n'abakazi Abayonaani bangi ab'ekitiibwa n'abasajja nabo ne bakkiriza.
13
Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo ne mu Beroya, era ne bagendayo ne batabangula ekibiina.
14
Awo amangwago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.
15
Abaawerekera Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, ne bakomawo e Beroya ng'abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy'ali.
16
Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kujjudde ebifaananyi.
17
Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga.
18
Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti, “Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono?” Abamu ne bagamba nti, “ Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya,” kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
19
Ne bamutwala ne bamuleeta mu Aleyopaago nga bagamba nti, “ Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?
20
Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g'ebigambo bino.”
21
Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba kuwuliranga ekigambo ekiggya.
22
Pawulo n'ayimirira wakati mu Aleyopaago n'agamba nti: “Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.
23
Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira.
24
Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono,
25
so taweerezebwa mikono gy'abantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;
26
yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe:
27
banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe:
28
kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye.
29
Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu.
30
Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya,
31
kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.”
32
Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋŋoola; abalala ne bagamba nti, “ Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.”
33
Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati.
34
Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukazi erinnya lye Damali n'abalala wamu nabo.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28