bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 5
Acts 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
1
Naye omusajja erinnya lye Ananiya ne Safira mukazi we n'atunda ebibye,
2
ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng'amanyi, n'aleetako kitundu butundu n'akiteeka ku bigere by'abatume.
3
Naye Peetero n'agamba Ananiya nti, “ Lwaki Setaani ajjudde mu mutima gwo, okulimba Omwoyo Omutukuvu, ne weeterekerako ku muwendo gw'ennimiro?
4
Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki oteeseezza mu mutima gwo okukola bw'otyo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.”
5
Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agwa n'afiirawo. Entiisa nnyingi n'ekwata bonna abaakiwulira.
6
Abavubuka ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7
Awo bwe waali wayiseewo essaawa ssatu, mukazi we naye n'ayingira nga tamanyi bwe bibadde.
8
Peetero n'amubuuza nti, “Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe gutyo?” N'addamu nti, “Weewaawo, bwe gutyo.”
9
Naye Peetero n'amugamba nti, “ Kiki ekibekobaanyiza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe.”
10
Amangwago n'agwa ku bigere bya Peetero n'afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
11
Entiisa nnene n'ekwata ekkanisa yonna ne bonna abaawulira ebyo.
12
Obubonero n'eby'amagero bingi ne bikolebwanga abatume. Bonna baali wamu mu kisasi kya Sulemaani.
13
So ne wataba n'omu ku balala eyayaŋŋanga okubeegattako, naye abantu ne babagulumizanga;
14
abakkiriza bangi abasajja n'abakazi ne beeyongeranga okwegatta ku Mukama waffe.
15
Abantu n'okuleeta ne baleetanga abalwadde baabwe ku nguudo z'omu kibuga, ne babateekanga ku mikeeka ne ku bitanda, Peetero bwaba ayita ekisiikirize kye kituuke ku bamu.
16
Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna.
17
Naye kabona asinga obukulu ne bonna abaali naye ab'omu kibiina ky'Abasaddukaayo, ne bajjula obuggya,
18
ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly'abantu bonna.
19
Naye malayika wa Mukama ekiro n'aggulawo enzigi ez'ekkomera, n'abafulumya, n'abagamba nti, “
20
Mugende, muyimirire mu Yeekaalu mubuulire abantu ebigambo byonna eby'obulamu buno.”
21
Bwe baawulira ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n'ajja n'abaali naye, n'ayita olukiiko n'abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu kkomera okubaleeta.
22
Naye abaami abaagenda tebaabasanga mu kkomera, ne bakomawo, ne boogera
23
nga bagamba nti, “ Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.”
24
Bwe baawulira ebigambo ebyo omukulu wa Yeekaalu ne bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kijja okubuna.
25
Omuntu n'ajja n'ababuulira nti, “ Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu Yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu.”
26
Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja.
27
Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuuza
28
ng'agamba nti, “Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo.”
29
Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti, “ Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.
30
Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe bwe mwamuwanika ku muti.
31
Oyo Katonda yamulinnyisa ku mukono gwe ogwa ddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okuggyibwako ebibi:
32
naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera.”
33
Naye bo bwe baawulira ne balumwa nnyo, ne baagala okubatta.
34
Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, Omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera:
35
n'abagamba nti, “ Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby'abantu bano, kye mugenda okubakolako.
36
Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti, ‘ ye muntu omukulu.’ Abantu nga bikumi bina (400) ne beegatta naye, n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma.
37
Oluvannyuma lwe ne wasituka wo Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana.
38
Ne kaakano mbagamba nti, ‘ Mwebalame abantu bano, mubaleke,’ kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira;
39
naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda.”
40
Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne babalagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata.
41
Awo ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw'Erinnya.
42
Buli lunaku mu Yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
Recommended Reading
Commentary
Acts Commentaries
→
Devotional
Acts Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→