bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 20
Acts 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
1
Akacwano bwe kaamala okukkakkana, Pawulo n'ayita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okugenda e Makedoni.
2
N'agenda ng'ayita mu bitundu ebyo ng'abagumya, n'atuuka e Buyonaani.
3
Eyo n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga e Busuuli, n'ategeera olukwe Abayudaaya lwe baali basaze, n'asalawo okuddayo mu Makedoni.
4
Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo n'amuwerekerako okutuuka mu Asiya wamu n'Abasessaloniika, Alisutaluuko ne Sekundo; ne Gayo ow'e Derube ne Timoseewo; n'Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo.
5
Bano bo ne beyongerayo ne batulindirira mu Tulowa.
6
Ffe ne tusaabala okuva e Firipi nga tumaze okukwata ennaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, ne tulyoka tubatuukako. Eyo ne tumalayo ennaku musanvu.
7
Awo ku lunaku olwolubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkeera, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi.
8
Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nga zaaka.
9
Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi. Awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasumattuka n'ava ku mwaliiro ogwokusatu n'agwa ebweru n'afiirawo.
10
Pawulo n'akka wansi n'amusitulawo, n'agamba nti, “Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwe buli munda.”
11
N'addayo waggulu n'amenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okunyumya okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo.
12
Omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu, ne basanyuka nnyo.
13
Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tusaabala ne tutuuka e Aso, nga tulowooza ng'anatwegatirako eyo, naye ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu.
14
Bwe yatusanga mu Aso naasaabala naffe ne tutuuka e Mituleene.
15
Bwe twava eyo ne tusaabala, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo; ku lunaku lwokusatu ne tugoba ku Samo; ku lunaku lwokuna ne tutuuka e Mireeto.
16
Kubanga Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.
17
Bwe yali mu Mireeto n'atuma mu Efeso n'ayita abakadde b'ekkanisa.
18
Bwe baatuuka gy'ali n'abagamba nti, “Mmwe mumanyi okuva ku lunaku olwolubereberye bwe nnalinnya mu Asiya, bwe nnabanga nammwe mu biro byonna,
19
nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okugezesebwa ebyantukako olw'enkwe z'Abayudaaya:
20
bwe sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n'okubayigiririzanga mu maaso g'abantu ne mu buli nju,
21
nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katonda n'okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo.
22
Kaakano, laba, bwe nsibiddwa mu Mwoyo, ŋŋenda e Yerusaalemi, nga simanyi bye ndiraba eyo,
23
wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga.
24
Naye obulamu bwange sibutwala kuba kintu oba kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey'ekisa kya Katonda.
25
Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyaddayo kulaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka.
26
Kyenva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna,
27
kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna.
28
Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini.
29
Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo;
30
era mu mmwe mwekka muliva abantu nga boogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ku ludda lwabwe.
31
Kale mutunule, mujjukire nga saalekanga kulabula n'amaziga buli muntu mu myaka esatu emisana n'ekiro.
32
Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abaatukuzibwa.
33
Sseegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo.
34
Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange.
35
Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.’ ”
36
Bwe yayogera bw'atyo n'afukamira n'asaba nabo bonna.
37
Ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu kifuba Pawulo ne bamunywegera,
38
nga banakuwala okusinga byonna olw'ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28