bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 27
Acts 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
1
Awo bwe kyasalibwawo ffe tusaabale ku nnyanja okugenda e Italiya, Pawulo n'abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu, ow'ekitongole kya Augusito, erinnya lye Yuliyo.
2
Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, nga ne Alisutaluuko Omukedoni ow'e Ssessaloniika ali naffe.
3
Ku lunaku olwokubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira.
4
Ne tuvaayo ne tusaabala nga tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuli bubi.
5
Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky'e Lukiya.
6
Eyo omukulu w'ekitongole n'alabayo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kigenda Italiya, n'atusaabaza mu ekyo.
7
Twasaabala mpola olw'omuyaga omungi okumala ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone;
8
ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya.
9
Bwe waayitawo ebbanga ddene, nga n'obudde bweyongera kwonoonekera ddala, nga okusaabala ku nnyanja kyakabi, nga ne nnaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula
10
ng'abagamba nti, “Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe.”
11
Naye omukulu w'ekitongole n'agendera ku magezi g'omugoba w'ekyombo ne nnannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera.
12
Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abasinga obungi kyebaava basemba eky'okweyongerayo, oba nga kisoboka tutuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba.
13
Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete.
14
Naye waali tewanayita bbanga ddene, omuyaga ogw'amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta,
15
ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga.
16
Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato:
17
bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga.
18
Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olwokubiri ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo.
19
Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja.
20
Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba newakubadde emmunyeenye, gwo omuyaga nga gweyongera maanyi, era essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu.
21
Bwe baamala ekiseera ekiwanvu nga tebalidde, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti, “ Kyabagwanira, abasajja, okumpuliriza obutava mu Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n'okulumizibwa!
22
Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo.
23
Kubanga mu kiro, malayika wa Katonda wange gw'empeereza, yayimiridde we ndi,
24
ng'agamba nti, ‘Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira mu maaso ga Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe.’
25
Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye.
26
Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”
27
Naye ekiro eky'ekkumi n'ebina (14) bwe kyatuuka, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti banaatera okusemberera olukalu;
28
ne bagera ne balaba ebifuba abiri (20) bwe twagendako katono, ne bagera nate, ne balaba ebifuba kkumi na bitaano (15).
29
Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasika ana (4) ku kiwenda ne balindirira bukye.
30
Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa akaato ku nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga mu maaso g'ekyombo.
31
Pawulo n'agamba omukulu w'abasserikale n'abasserikale be nti, “Abasajja bano bwe batasigala mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka.”
32
Awo abasserikale ne basala emigwa gy'akaato ne bakaleka ne kagenda.
33
Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya (14) nga mulindirira nga temulya kantu konna,
34
Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu.”
35
Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atandika okulya.
36
Bonna ne baguma emyoyo, ne balya ku mmere.
37
Fenna abaali mu kyombo twali abantu bibiri mu nsanvu mu mukaaga (276).
38
Bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.
39
Bwe bwakya enkya, nga tebamanyi gyebali: naye ne balaba ekikono ekiriko omusenyu; ne bateesa, oba nga kiyinzika, okuseeza omwo ekyombo.
40
Ne bakutula amasika, ne bagaleka mu nnyanja, mu kiseera ekyo bwe baasumulula emigwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga eri mu maaso eri empewo ne boolekera ku ttale.
41
Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri (2) we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibukuka n'amaanyi g'amayengo.
42
Abasserikale ne bateesa abasibe battibwe baleme okuwugirira okudduka.
43
Naye kubanga omukulu w'abasserikale yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye baali bateesezza. Awo n'alagira abasobola okuwuga bawuge batuuke ku lukalu.
44
Abo abaali tebasobola kuwuga ne bagezaako okweyambisa ebitundutundu by'embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu bulungi.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28