bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 4
Acts 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
1
Awo Peetero ne Yokaana bwe baali nga boogera n'ekibiina, bakabona n'omukulu wa Yeekaalu n'Abasaddukaayo ne bajja gye baali,
2
nga bansunguwadde nnyo kubanga baayigiriza abantu era baabuulira mu Yesu okuzuukira mu bafu.
3
Ne babakwata ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera: kubanga bwali buwungedde.
4
Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza ekigambo ne bakkiriza, omuwendo gw'abasajja ne baba ng'enkumi ttaano (5,000).
5
Awo enkeera, abakulu n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi,
6
ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu:
7
ne babateeka wakati, ne bababuuza nti, “Maanyi ki oba linnya ki mmwe musinzidde okukola kino?”
8
Awo Peetero nga ajjudde Omwoyo Omutukuvu, n'abagamba nti, “ Abakulu b'abantu n'abakadde,
9
bwe tuba tubuuzibwa leero olw'ekyo ekirungi ekikoleddwa kw'ono eyagongobala, ekimuwonyezza;
10
kisaanye kitegeerekeke eri mwenna n'eri abantu bonna mu Isiraeri nti, mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe.
11
Oyo lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
12
So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.”
13
Awo bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n'okutegeera ne bategeera nga si bayigirize, bantu ba bulijjo, ne beewuunya, ne bategeera nga baali wamu ne Yesu.
14
Era bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo, nga tebaalina kya kuddamu.
15
Naye ne babagamba okugira nga bava mu lukiiko, bamale bo bokka okusalawo eky'okubakola.
16
Ne beebuuza nti, “ Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga bakoze akabonero akayatiikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana.
17
Naye kireme okweyongeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna.”
18
Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu.
19
Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu ne babagamba nti, “Oba nga kirungi mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda, mwogere;
20
kubanga ffe tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba bye twawulira.”
21
Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibiina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa.
22
Kubanga omuntu eyakolerwa akabonero kano ak'okuwonyezebwa yali asusizza emyaka ana egy'obukulu.
23
Bwe baateebwa ne bagenda mu kibiina kyabwe, ne bategeeza byonna bye bagambiddwa bakabona abakulu n'abakadde.
24
Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti, “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna,
25
ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi omuweereza wo nti,” “ ‘Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, N'ebika birowoozezza ebitaliimu?
26
Bakabaka b'ensi baasimba ennyiriri, N'abakulu baakuŋŋaanira wamu Ku Mukama ne ku Kristo we. ’ ”
27
“Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku muweereza wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri,
28
bakole byonna omukono gwo n'okuteesa kwo bye byalagira edda okubaawo.
29
Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo,
30
bw'ogolola omukono gwo owonye, n'obubonero n'amagero bikolebwenga mu linnya ly'omuweereza wo omutukuvu Yesu.”
31
Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
32
N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu kyalina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.
33
N'amaanyi mangi abatume ne boogeranga okutegeeza kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. N'ekisa kingi ne kibeeranga ku bo bonna.
34
Kubanga tewaali mu bo eyeetaaganga; kubanga bonna abaalina ensuku oba ennyumba baazitundanga ne baleeta omuwendo gwazo ezaatundibwanga,
35
ne baguteeka ku bigere by'abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga.
36
Ne Yusufu abatume gwe baayita Balunabba, amakulu gaalyo nti, azzamu abalala amaanyi, Omuleevi, eyazaalirwa e Kupulo,
37
yalina ennimiro, n'agitunda n'aleeta ensimbi ezaavaamu naazileeta eri abatume.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
Recommended Reading
Commentary
Acts Commentaries
→
Devotional
Acts Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→