bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 28
Acts 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
1
Bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera ng'ekizinga kiyitibwa Merita.
2
Abantu b'okukizinga ekyo baatulaga ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna, nga ne mpewo nnyingi ate nga n'enkuba yali etandise okutonnya.
3
Naye Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku, n'agussa mu muliro, embalasaasa n'evaamu olw'ebbugumu n'emwerippa ku mukono.
4
Abantu b'okukizinga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti, “ Mazima omuntu ono mussi; newakubadde awonye okufiira mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu.”
5
Naye n'akunkumulira mu muliro ekyekulula n'atabaako kabi.
6
Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti, “ katonda.”
7
Waaliwo kumpi n'ekifo ekyo ensuku z'omuntu omukulu w'ekizinga, erinnya lye Pubuliyo; oyo n'atusembeza n'atujjanjaba n'ekisa ennaku ssatu.
8
Awo kitaawe wa Pubuliyo yali agalamidde, ng'alwadde omusujja n'ekiddukano ky'omusaayi: Pawulo n'ayingira mw'ali, n'asaba n'amussaako emikono n'amuwonya.
9
Ekyo bwe kyakolebwa, abalala nabo abaali ku kizinga abaalina endwadde ne bajja ne bawonyezebwa:
10
era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku kyombo ebintu bye twetaaga.
11
Oluvannyuma lw'emyezi esatu ne tusitula, twaviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyali ku kizinga mu biro eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo.
12
Ne tugoba mu Sulakusa ne tumalayo ennaku ssatu:
13
ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe waayitawo olunaku lumu, empewo ez'omuggundu ne zikunta, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putiyooli;
14
gye twasanga ab'oluganda ne batuyita okumala wamu nabo ennaku musanvu: awo bwe tutyo ne tutuuka e Ruumi
15
Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo.
16
Bwe twayingira mu Ruumi, Pawulo n'akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng'alina omusserikale amukuuma.
17
Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti, “Ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi:
18
abo bwe baamala okunkemereza ne baagala okunsumulula, kubanga tewaali nsonga gye ndi ya kunzisa.
19
Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe.
20
Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno.”
21
Bo ne bamugamba nti, “ Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe.
22
Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga enzikiriza eno, tumanyi nti bagiwakanya wonna wonna.”
23
Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
24
Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza.
25
Awo bwe balemwa okukwatagana ne bagenda, nga Pawulo amaze okwogera ekigambo kino nti, “ Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu kitabo kya nnabbi Isaaya
26
ng'agamba nti,” “ ‘Genda eri abantu bano, oyogere nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okulaba muliraba, ne muteetegeereza
27
Kubanga omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe bawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, N'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima gwabwe, N'okukyuka, Nze okubawonya. ’ ”
28
“Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezeddwa ab'amawanga, nabo balibuwulira.”
29
Bwe yayogera ebigambo ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30
Awo Pawulo n'amalayo emyaka ebiri miramba ng'asula mu nnyumba gye yeepangisiza, n'asembezanga bonna abajjanga gy'ali,
31
ng'abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng'ayigirizanga mu lwatu ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, nga tewali amuziyiza.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28