bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 25
Acts 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
1
Awo Fesuto bwe yatuuka mu ssaza, bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ava mu Kayisaliya n'agenda e Yerusaalemi.
2
Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamubuulira bye bavunaana Pawulo; ne bamwegayirira,
3
abayambe atumye Pawulo aleetebwe e Yerusaalemi, nga bateekateeka okumuteegera mu kkubo okumutta.
4
Naye Fesuto n'addamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, nga naye ye yennyini yali ateekateeka okugendayo amangu ddala.
5
N'agamba nti, “Kale abakulu mu mmwe bagende nange, bamuvunaane oyo oba ng'aliko ekibi kyonna kyonna.”
6
Oluvannyuma lw'ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olwokubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo.
7
Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy'amaanyi okumuvunaana, kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu ku gyo.
8
Pawulo n'awoza nti, “Siyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya newakubadde ku Yeekaalu newakubadde eri Kayisaali.”
9
Naye Fesuto, olw'okwagala okusanyusa Abayudaaya, n'abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange?”
10
Naye Pawulo n'agamba nti, “Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi.
11
Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulidde eri Kayisaali.”
12
Fesuto bwe yamala okuteesa nabo mu lukiiko n'alyoka addamu nti, “ Nga bw'ojulidde ewa Kayisaali, kale oligenda ewa Kayisaali.”
13
Awo bwe waayitawo ennaku, kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya, okwaniriza Fesuto.
14
Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti, “Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe:
15
bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango.
16
Ne mbaddamu nti, ‘Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana.’
17
Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olwokubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo.
18
Bwe baayimirira abamuvunaana ne bataleeta nsonga ya bigambo bibi nga bwe nnali ndowooza;
19
naye baalina ku ye ebibuuzibwa mu ddiini yaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafa, Pawulo gwe yayogerako okuba omulamu.
20
Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino.
21
Naye Pawulo bwe yajulira okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusa lwe ndimuweereza eri Kayisaali.”
22
Agulipa n'agamba Fesuto nti, “Nnandyagadde nange okuwulira omuntu oyo.” N'agamba nti, “Enkya onoomuwulira.”
23
Awo ku lunaku olwokubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa.
24
Fesuto n'agamba nti, “ Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate.
25
Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Augusito ne nsalawo okumuweerezaayo.
26
Sirina kigambo ku ye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w'oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n'ekigambo eky'okuwandiika.
27
Kubanga ndaba nga tekisaana kuweereza omusibe nga tolaze nsonga zimuvunaanibwa.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28