bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 8
Acts 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
1
Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwa Suteefano. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z'e Buyudaaya n'e Samaliya, okuggyako abatume.
2
Abantu abatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukaabira nnyo.
3
Naye Sawulo n'afuba okusaanyawo ekkanisa, ng'ayingira mu buli nju, ng'awalula abasajja n'abakazi n'abateeka mu kkomera.
4
Awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.
5
Firipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samaliya, n'ababuulira Kristo.
6
Ebibiina ne biwulira n'omwoyo gumu ebigambo Firipo by'ayogedde, bwe baawulira ne balaba eby'amagero ge yakolanga.
7
Kubanga bangi ku bo abaaliko badayimooni, ne babavangako nga bakaaba n'eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n'abalema.
8
Essanyu lingi ne libeera mu kibuga omwo.
9
Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eggwanga ly'e Samaliya, ng'agamba nti, ye mukulu;
10
ne bamuwuliranga bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, nga bagamba nti, “ Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amangi.”
11
Ne bamuwuliranga, kubanga ennaku nnyingi yabawuniikirizanga n'okuloga kwe.
12
Naye bwe bakkiriza Firipo ng'abuulira Enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n'abakazi.
13
Era ne Simooni yennyini n'akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n'abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya.
14
Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nga e Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.
15
Nabo bwe baatuuka ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu:
16
kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
17
Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu.
18
Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza
19
ng'agamba nti, “ Mumpe nange obuyinza buno buli gwe nnassangako emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu.”
20
Naye Peetero n'amugamba nti, “ Effeeza yo ezikirire naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda n'ebintu.
21
Tolina mugabo newakubadde okugabana mu kigambo kino: kubanga omutima gwo si mugolokofu mu maaso ga Katonda.
22
Kale weenenye obubi bwo obwo, osabe Mukama waffe, mpozzi olisonyiyibwa ekirowoozo eky'omu mutima gwo.
23
Kubanga nkulaba oli mu mususa ogukaawa ne mu nvuba y'obubi.”
24
Simooni n'addamu n'agamba nti, “Munsabire mmwe eri Mukama ebigambo ebyo bye mwogedde bireme okumbaako n'ekimu.”
25
Awo bwe baamala okutegeeza n'okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira Enjiri mu mbuga nnyingi ez'Abasamaliya.
26
Awo malayika wa Mukama n'agamba Firipo nti, “ Golokoka, ogende obukiikaddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza.” Ekkubo eryo lya ddungu.
27
N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza,
28
yali atudde mu ggaali ye ng'addayo ewaabwe, ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya.
29
Omwoyo n'agamba Firipo nti, “Sembera, weegatte n'eggaali eyo.”
30
Firipo n'adduka n'atuuka ku ggaali, n'amuwulira Omuwesiyopya ng'asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'agamba nti, “Otegeera by'osoma?”
31
N'amuddamu nti, “Nnyinza ntya, wabula nga waliwo andagirira?” Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye.
32
Ekyawandiikibwa kye yali asoma kyali kigamba nti, Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga, Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika, Bwe kityo teyayasamya kamwa ke:
33
Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo: Ekika kye ani alikinnyonnyola? Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi.
34
Omulaawe n'abuuza Firipo nti, “ Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Yeeyogerako yekka oba ayogera ku muntu mulala?”
35
Firipo n'ayasama akamwa ke n'asookera ku kyawandiikibwa kino n'amubuulira Yesu.
36
Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti, “ Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?” [
37
Firipo n'agamba nti, Oba ng'okkirizza n'omutima gwo gwonna, kirungi. N'addamu n'agamba nti, Nzikkirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.]
38
N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi, Firipo n'amubatiza.
39
Bwe baava mu mazzi, Omwoyo wa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba nate, naye n'agenda ng'asanyuka.
40
Naye Firipo n'alabikira mu Azoto, n'agenda ng'abuulira Enjiri mu bibuga byonna okutuukira ddala e Kayisaliya.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
Recommended Reading
Commentary
Acts Commentaries
→
Devotional
Acts Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→