bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 16
Acts 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
1
Awo Pawulo n'atuuka e Derube ne Lusitula. Eyo waliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'omukazi Omuyudaaya omukkiriza, naye nga kitaawe Muyonaani;
2
ab'oluganda abaali mu Lusitula ne Ikonio baali bamwogerako bulungi.
3
Pawulo n'ayagala okugenda ne Timoseewo, n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baali bamanyi nga kitaawe bw'ali Muyonaani.
4
Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babakuutira okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi.
5
Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.
6
Awo Pawulo ne banne ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya;
7
bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo wa Yesu n'atabakkiriza;
8
ne bayita buyisi e Musiya, ne batuuka e Tulowa.
9
Pawulo n'afuna okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti, “Jjangu eno ewaffe e Makedoni otuyambe.”
10
Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangwago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira Enjiri.
11
Awo ne tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Neyapoli;
12
ne tuvaayo okutuuka e Firipi, ekibuga ekikulu eky'e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku.
13
Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana.
14
Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n'atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe n'asaayo omwoyo kw'ebyo Pawulo bye yayogera.
15
Bw'atyo bwe yabatizibwa n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'atwegayirira ng'agamba nti, “ Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo.” N'atuwaliriza.
16
Awo olwatuuka bwe twali tugenda wali awaasabirwanga, ne tusisinkana omuwala eyaliko omwoyo ogulagula, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula.
17
Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi.”
18
N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti, “ Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo muveeko.” N'amuvaako mu kiseera ekyo.
19
Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu,
20
ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti, “Abasajja bano Abayudaaya basasamaza nnyo ekibuga kyaffe,
21
bayigiriza empisa ezitakkirizibwa ffe Abaruumi okukwata oba okukola.”
22
Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo.
23
Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindika mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo:
24
oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abateekera ddala mu kkomera ery'omunda, n'ebigere byabwe n'abissa mu nvuba.
25
Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali basaba, era nga bwe bayimbira Katonda, nga n'abasibe abalala bawuliriza,
26
amangwago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana. Amangwago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka.
27
Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye.
28
Naye Pawulo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba nti, “Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano.”
29
N'asaba ettaala, n'ayanguwa n'ayingira munda mu kkomera, n'agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira, ng'akankana,
30
n'abafulumya ebweru n'agamba nti, “ Bassebo, kiŋŋwanidde kukola ki okulokolebwa?”
31
Ne bagamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo.”
32
Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye.
33
N'abatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna.
34
N'abatwala mu nnyumba ye, n'abawa emmere, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda.
35
Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti, “Musumulule abantu abo.”
36
Omukuumi w'ekkomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumye okubasumulula: kale kaakano mufulume, mugende n'emirembe.
37
Naye Pawulo n'abagamba nti, “ Batukubidde mu maaso g'abantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli bantu Baruumi, ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye.”
38
Abasserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi:
39
ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga.
40
Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babagumya ne bagenda.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28