bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 19
Acts 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
1
Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso, Pawulo n'ayitira ku lukalu n'atuuka mu Efeso n'asangayo abayigirizwa,
2
n'abagamba nti, “Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu bwe mwakkiriza?” Ne bamugamba nti, “Nedda, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu.”
3
N'agamba nti, “ Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bagamba nti, “Mu kubatizibwa kwa Yokaana.”
4
Pawulo n'ayogera nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja oluvannyuma lwe, ye Yesu.”
5
Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
6
Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi no kutegeeza obunnabbi.
7
Abantu bonna baali nga kkumi na babiri (12).
8
N'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayogeranga n'obuvumu okumala emyezi esatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga abantu okukkiriza ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda.
9
Naye abamu bwe baakakanyala ne batawulira, nga bavumanga Ekkubo mu maaso g'ekibiina, n'ava gye baali, n'ayawula abayigirizwa, ng'awakaniranga buli lunaku mu ssomero lya Tulaano.
10
Ebyo ne bimala emyaka ebiri, ne bonna abaali batuula mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waffe, Abayudaaya n'Abayonaani.
11
Katonda n'akolanga eby'amagero ebitalabwanga ko buli lunaku mu mikono gya Pawulo,
12
n'abalwadde ne baleeterwanga ebiremba n'engoye ez'okumubiri gwe, endwadde ne dayimooni ne bibavangako.
13
Naye waliwo abantu Abayudaaya abaagendanga nga bagoba emyoyo emibi, ne beetulinkiriza okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti, “ Mbalayiza Yesu Pawulo gw'abuulira.”
14
Awo waaliwo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakola bwe batyo.
15
Dayimooni n'addamu n'abagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe b'ani?”
16
Omuntu eyaliko dayimooni n'ababuukira n'abasinza bonna amaanyi, n'abataagulataagula, n'okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu.
17
Ekyo ne kitegeerwa bonna Abayudaaya n'Abayonaani abaatuulanga mu Efeso; entiisa n'ebakwata bonna, erinnya lya Mukama waffe Yesu ne ligulumizibwa.
18
Era bangi ku bo abakkiriza ne bajja, ne baatula ne bategeeza ebikolwa byabwe.
19
Era bangi ku bo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna: ne babala omuwendo gwabyo ne oguwera ebitundu bya ffeeza emitwalo ettaano.
20
Bwe kityo ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula.
21
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n'okugenda e Yerusaalemi, ng'agamba nti, “Bwe ndiva eyo, kiriŋŋwanira era okugenda e Ruumi.”
22
N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye n'asigala mu Asiya okumala ekiseera.
23
Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwano kanene olw'Ekkubo.
24
Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwafuniranga abaweesi amagoba amangi;
25
n'akuŋŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'agamba nti, “ Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva;
26
mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng'agamba nti, ‘Abakolebwa n'emikono si bakatonda.’
27
Naye si ffe fekka abali mu kabi ak'omulimu gwaffe okunyoomebwanga, naye n'essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n'oyo n'okuggibwa n'aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n'ensi zonna.”
28
Bwe baawulira ne bajjula obusungu ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “ Atemi w'Abaefeso mukulu.”
29
Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu Teyatero, nga bwe bawalula Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo.
30
Pawulo bwe yayagala okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamukkiriza.
31
Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu Teyatero.
32
Abamu ne boogerera waggulu bulala, n'abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n'abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza.
33
Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ayagala okwennyonnyola ko eri abantu.
34
Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi limu okumala ng'essaawa bbiri nti, “ Atemi w'Abaefeso mukulu.”
35
Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n'agamba nti, “ Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu.
36
Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwanidde mmwe okukkakkana n'obutakola kintu mu kwanguyiriza.
37
Kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo so era tebavvodde katonda waffe omukazi.
38
Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko weeziri n'abaamasaza weebali: baloopagane.
39
Naye oba nga munoonya birala, binaasalirwa mu kkuŋŋaaniro eribaawo bulijjo.
40
Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw'akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw'okukuŋŋaana kuno.”
41
Bwe yayogera bw'atyo n'asiibula ekibiina.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28