bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Acts 18
Acts 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo Pawulo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso.
2
Eyo gye yasisinkanira omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali;
3
era kubanga baalina omulimu gwe gumu, nga bakozi ba weema, n'abeeranga nabo, era n'akolanga nabo.
4
N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani.
5
Era Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo neyemalira ku kubuulira ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.
6
Naye Abayudaaya bwe batandika okumuwakanya n'okumuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu, okuva kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.”
7
Awo Pawulo n'avaayo n'agenda mu nnyumba y'omusajja erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye ng'eriraanye ekkuŋŋaaniro.
8
Kulisupo, eyali omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.
9
Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti, “Totya, naye yogeranga, tosirikanga,
10
kubanga nze ndi wamu naawe, so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.”
11
N'amalayo ebbanga lya mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo.
12
Naye Galiyo bwe yali nga ye w'essaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n'omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango,
13
nga bagamba nti, “ Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etekkirizibwa mu mateeka.”
14
Naye Pawulo bwe yali agenda okutandika okuwoza, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti, “ Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona kwonna, nanditeekeddwa okubagumiikiriza, mmwe Abayudaaya,
15
naye oba nga ensonga zammwe zikwata ku kubuuzagana kw'ebigambo, n'amannya n'amateeka gammwe, nze saagala kusala musango gw'ebyo.”
16
N'abagoba awasalirwa emisango.
17
Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Kyokka era Galiyo teyabafaako.
18
Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'asaabala ku nnyanja n'agenda e Busuuli, ng'ali wamu ne Pulisikira ne Akula. Naye nga tanasaabala yamala kumwebwa nviiri mu Kenkereya olw'obweyamo bwe yali akoze.
19
Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya.
20
Bwe bamusaba abeere nabo ennaku eziweerako, n'atakkiriza;
21
naye n'abasiibula n'agamba nti, “ Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde.” Bwatyo n'asaabala ku nnyanja n'avaayo mu Efeso.
22
N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya.
23
Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n'e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna.
24
Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezanderiya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa.
25
Oyo yali ng'ayigiriziddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, kyokka ng'amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka.
26
N'atandika okwogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira ne bamutwala mu maka gaabwe ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.
27
Bwe yayagala okuwunguka okutuuka e Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa:
28
kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28