bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 1
Judges 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
1
Awo Yoswa ng'amaze okufa, Abayisirayeli ne babuuza Mukama nti: “Baani ababa basooka okugenda okulumba Abakanaani okubalwanyisa?”
2
Mukama n'addamu nti “Ab'Ekika kya Yuda be baba basooka okugenda. Bo be mpadde okufuga ensi eyo.”
3
Ab'Ekika kya Yuda ne bagamba ab'Ekika kya Simyoni nti: “Mujje tugende ffenna mu kitundu ekiweereddwa ffe tulwanyise Abakanaani nga tuli wamu. Era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu ekiweereddwa mmwe.” Awo ab'Ekika kya Simyoni
4
n'ab'ekya Yuda ne bagendera wamu mu lutalo. Mukama n'abawa okuwangula Abakanaani n'Abaperizi, ne babattamu abasajja omutwalo gumu e Bezeki.
5
Ne basanga Adonibezeki mu Bezeki, ne bamulwanyisa.
6
N'adduka, kyokka ne bamuwondera ne bamukwata, ne bamutemako engalo ze ensajja n'ebigere bye ebisajja.
7
Adonibezeki n'agamba nti: “Bakabaka ensanvu be natemako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja baakuŋŋaanyanga obukunkumuka bw'emmere wansi w'emmeeza yange. Kaakano Katonda ansasudde ekyo kye nabakola.” Ne bamutwala e Yerusaalemu, era eyo gye yafiira.
8
Awo ab'Ekika kya Yuda ne balumba Yerusaalemu, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu, ekibuga ne bakyokya omuliro.
9
Bwe baava awo ne bagenda okulwanyisa Abakanaani ab'omu nsi ey'ensozi, ne mu bisenyi ne mu nsi enkalu ey'omu bukiikaddyo.
10
Ne balumba Abakanaani abaali mu kibuga Heburooni, ekyayitibwanga Kiriyati Aruba, ne bawangula Abasesayi n'Abayimani n'Abatalumayi.
11
Ab'ekika kya Yuda bwe baava eyo, ne balumba ekibuga ky'e Debiri, ekyayitibwanga Kiriyati Seferi.
12
Omu ku bo ayitibwa Kalebu n'agamba nti: “Anaalumba n'awamba ekibuga Kiriyati Seferi nja kumuwa muwala wange Akasa amuwase.”
13
Otiniyeeli mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu n'akiwamba. Kalebu n'amuwa muwala we Akasa amuwase.
14
Ku lunaku olw'embaga ey'obugole bwabwe, Otiniyeeli n'akuutira Akasa okusaba kitaawe amuwe ennimiro. Awo Akasa n'ava ku ndogoyi ye, n'akka wansi. Kalebu n'amubuuza nti: “Oyagala ki?”
15
Akasa n'agamba nti: “Nnyamba ompe n'enzizi z'amazzi, kubanga ensi gy'ompadde nkalu.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
16
Bazzukulu b'Omukeeni, kitaawe wa muka Musa, ne bagenda wamu n'ab'Ekika kya Yuda okuva e Yeriko, ekibuga ky'enkindu, ne balaga mu nsi enkalu, eri mu bukiikaddyo obwa Aradi mu Buyudaaya. Ne basenga mu Bamaleki.
17
Ab'omu Kika kya Yuda ne bagenda wamu n'ab'omu Kika kya Simyoni, ne bawangula Abakanaani abaali mu kibuga Zefati, ne bakizikiririza ddala, ne bakituuma erinnya Horuma.
18
Ab'Ekika kya Yuda ne bawangula Gaaza ne Asikelooni ne Ekurooni, n'ebitundu ebibyetoolodde.
19
Era Mukama n'abayamba ne bawamba ensi ey'ensozi. Naye ne batasobola kugobamu batuuze ab'omu bisenyi, kubanga abatuuze abo baalina amagaali ag'ebyuma.
20
Ekibuga Heburooni ne kiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, Kalebu n'agobamu ab'ebika ebisatu eby'abazzukulu ba Anaki.
21
Naye ab'Ekika kya Benyamiini ne batagoba Bayebusi mu Yerusaalemu. Okuva olwo Abayebusi ne bongera okukibeeramu awamu nabo n'okutuusa kati.
22
Ab'omu Kika kya Efurayimu n'ab'omu Kika kya Manasse nabo ne balumba Beteli ekyali kiyitibwa Luuzi, Mukama n'abayamba.
23
Ne batuma abakessi mu kibuga.
24
Abakessi abo ne balaba omusajja akivaamu, ne bamugamba nti “Tulagirire mangu we tuyinza okuyita okuyingira mu kibuga, olwo naffe tetuukukoleko kabi”.
25
N'abalagirira. Ne batta ab'omu kibuga bonna, okuggyako omusajja oyo n'ab'omu maka ge.
26
Omusajja oyo n'agenda mu nsi y'Abahiiti n'azimbayo ekibuga, n'akituuma erinnya Luuzi. Era kikyayitibwa erinnya eryo n'okutuusa kati.
27
Ab'omu Kika kya Manasse tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Beti Seyani ne Taanaki, ne Doori, ne Yibuleyani, ne Megiddo, n'ab'omu byalo ebibiriraanye, Abakanaani ne bongera okubeera mu nsi eyo.
28
Awo Abayisirayeli bwe beeyongera okuba ab'amaanyi, ne bawaliriza Abakanaani okubakoleranga emirimu, naye ne batabagoberamu ddala.
29
Ab'omu Kika kya Efurayimu tebaagobamu Bakanaani abaali mu kibuga Gezeri, Abakanaani ne bongera okubeeramu wamu nabo.
30
Ab'omu Kika kya Zebbulooni tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Kituroni ne Nakalali, Abakanaani ne bongera okubibeeramu awamu nabo, ne bawalirizibwa okukoleranga Abayisirayeli emirimu.
31
Ab'omu Kika kya Aseri tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Akko ne Sidoni, ne Alabu ne Akuzibu, wadde ab'omu Eluba ne Afeki ne Rehobu.
32
Ab'omu Kika kya Aseri ne babeera wamu n'abatuuze Abakanaani, kubanga tebaabagobaamu.
33
Ab'omu Kika kya Nafutaali ne batagobaamu batuuze ba mu bibuga Beti-Semani ne Beti-Anati. Ab'omu Kika kya Nafutaali ne bongera okubeera awamu n'abatuuze Abakanaani naye ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
34
Abaamori baasindiikiriza ab'omu Kika kya Daani ne babazzaayo mu nsi ey'ensozi, ne batabakkiriza kukka mu lusenyi.
35
Abaamori ne bongera okubeera mu Ayiyalooni, ne mu Saalubini, ne ku lusozi Eresi. Naye ab'omu Kika kya Efurayimu n'ab'omu Kika kya Manasse ne babakinako, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
36
Okuva mu bukiikaddyo obwa Seela, ensalo y'Abaamori yayitiranga mu ntikko ya Akurabbimu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21