bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 11
Judges 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
1
Yefuta omutabaazi ow'amaanyi omuzira ow'e Gileyaadi, yali mutabani wa mukazi malaaya. Gileyaadi kitaawe,
2
yalina batabani be abalala, aba mukazi we. Bwe baakula, ne bagoba Yefuta awaka, ne bamugamba nti: “Tolibaako ky'osikira mu nnyumba ya kitaffe, kubanga oli mwana wa mukazi mulala.”
3
Awo Yefuta n'adduka baganda be, n'abeera mu nsi y'e Tobu. Abasajja abataliiko kye bagasa ne bamukuŋŋaanirako, ne batabaalanga wamu naye.
4
Awo ekiseera bwe kyayitawo, Abammoni ne balwanyisa Yisirayeli.
5
Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagenda okuggyayo Yefuta mu nsi y'e Tobu.
6
Ne bamugamba nti: “Jjangu otukulembere, tulwanyise Abammoni.”
7
Yefuta n'abagamba nti: “Mwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange. Kale lwaki mujja gye ndi kaakano nga muli mu buzibu?”
8
Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Tukyukira gy'oli kaakano, kubanga twagala ogende naffe olwanyise Abammoni, era obe mukulembeze wa bantu bonna mu Gileyaadi.”
9
Yefuta n'abagamba nti: “Bwe munanzizaayo ewaffe okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa obuwanguzi, ndiba mufuzi wammwe.”
10
Ne bamuddamu nti: “Tukkirizza. Mukama ye mujulirwa waffe.”
11
Awo Yefuta n'agenda n'abakulembeze b'e Gileyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafuga. Yefuta n'ayogera ebigambo bye byonna mu maaso ga Mukama e Mizupa.
12
Awo Yefuta n'atuma ababaka eri kabaka w'Abammoni okumugamba nti: “Otuvunaana ki? Lwaki olumba ensi yaffe?”
13
Kabaka w'Abammoni n'addamu ababaka ba Yefuta nti: “Abayisirayeli bwe baava mu Misiri, baatwala ekitundu ky'ensi yange, okuva ku Mugga Arunoni, okutuuka ku Mugga Yabboki, ne ku Mugga Yorudaani. Kale kaakano ekitundu ekyo mukituddize lwa mirembe.”
14
Yefuta n'atuma nate ababaka eri kabaka w'Abammoni
15
ng'amuddamu nti: “Yisirayeli tanyaganga nsi ya Mowaabu, wadde ensi ya Ammoni.
16
Naye Abayisirayeli bwe baava e Misiri, baayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, ne bagguka e Kadesi.
17
Awo ne batuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumusaba abakkirize okuyita mu nsi ye. Kyokka kabaka wa Edomu n'atabakkiriza. Abayisirayeli ne basigala e Kadesi.
18
Awo ne balyoka bayita mu ddungu, ne beetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, ne batuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni. Naye tebaatuuka mu ttaka lya Mowaabu, kubanga Arunoni ye nsalo ya Mowaabu.
19
Awo Abayisirayeli ne batuma ababaka eri Sihoni, kabaka w'Abaamori ow'e Hesubooni, ne bamusaba abakkirize okuyita mu nsi ye bagende mu yaabwe.
20
Kyokka Sihoni n'ateesiga Yisirayeli kuyita mu nsi ye. N'akuŋŋaanya eggye lyonna n'asiisira mu Yahazi n'alwanyisa Yisirayeli.
21
Mukama, Katonda wa Yisirayeli n'awa Abayisirayeli okuwangula Sihoni n'eggye lye. Abayisirayeli ne balyoka batwala ekitundu kyonna eky'Abaamori abaabeeranga mu nsi eyo.
22
Ne batwala ekitundu kyonna eky'Abaamori, okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki, mu bukiikakkono, n'okuva ku Yorudaani mu bukiikaddyo.
23
Kale Mukama Katonda wa Yisirayeli ye yagobamu Abaamori olw'abantu be Abayisirayeli. Ggwe onookyeddiza?
24
Kuuma ensi, lubaale wo Kemosi gy'akuwa. Naye naffe tujja kukuuma buli kimu Mukama Katonda waffe ky'atuwa.
25
Olowooza nga ggwe osinga Balaki, mutabani wa Zippori, kabaka wa Mowaabu? Yawakanyaako Abayisirayeli, wadde okubalwanyisa?
26
Yisirayeli amaze emyaka ebikumi bisatu mu Hesubooni ne Aroweri, n'ebyalo ebibyetoolodde, ne mu bibuga byonna, ebiri ku mbalama z'Omugga Arunoni. Kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo?
27
Si nze nsobezza, naye ggwe osobezza okunnwanyisa. Mukama ye mulamuzi. Alamule leero wakati w'Abayisirayeli n'Abammoni.”
28
Naye kabaka w'Abammoni n'atafa ku bubaka, Yefuta bwe yamutumira.
29
Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yefuta, n'ayita mu Gileyaadi ne mu Manasse, n'adda mu Mizupa eky'omu Gileyaadi, n'agenda eri Abammoni.
30
Yefuta ne yeeyama obweyamo eri Mukama nti: “Bw'olimpa okuwangula Abammoni,
31
omuntu alisooka okufuluma mu miryango gy'ennyumba yange okunnyaniriza nga nkomyewo n'obuwanguzi, aliba wa Mukama. Ndimuwaayo okuba ekitambiro ekyokebwa.”
32
Awo Yefuta n'asomoka omugga okulwanyisa Abammoni, Mukama n'amuwa obuwanguzi.
33
N'abakuba okuva ku Aroweri okutuuka mu miriraano gya Minniti, bye bibuga amakumi abiri, n'okutuuka ku Abelu Keramimu. N'abattamu bangi nnyo. Bwe batyo Abammoni ne bawangulwa Abayisirayeli.
34
Yefuta bwe yaddayo eka mu Mizupa, muwala we n'ajja okumusisinkana ng'azina era ng'akuba ensaasi. Ye yali omwana we yekka. Teyalina mwana mulala ow'obulenzi oba ow'obuwala okuggyako oyo yekka.
35
Yefuta bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazizza nnyo! Era ondeetedde okweraliikirira, kubanga neeyama obweyamo eri Mukama, siyinza kubumenyawo!”
36
Omuwala n'amugamba nti: “Kitange, oba nga weeyama obweyamo eri Mukama, tuukiriza kye wagamba okunkolako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga ku balabe bo Abammoni.”
37
Kyokka n'agamba kitaawe nti: “Nkolera ekintu kino kimu: ndeka okumala emyezi ebiri, ŋŋende ne mikwano gyange ntambuletambule mu nsozi, nkungubage olw'okufa nga simanyi musajja.”
38
Yefuta n'amugamba nti: “Genda.” N'amusiibula amale emyezi ebiri. N'agenda ne mikwano gye mu nsozi n'akungubagira eyo olw'okufa nga tamanyi musajja.
39
Emyezi ebiri bwe gyaggwaako, omuwala n'adda eri kitaawe. Kitaawe n'akola nga bwe yeeyama eri Mukama, omuwala n'afa nga tamanyi musajja. Eno ye yali entandikwa y'empisa mu Yisirayeli,
40
abawala okugendanga buli mwaka, ne bamala ennaku nnya nga bakungubagira muwala wa Yefuta ow'e Gileyaadi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21