bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 13
Judges 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
1
Awo Abayisirayeli ne beeyongera nate okukola ebibi ne banyiiza Mukama. Mukama n'abaleka okufugibwa Abafilistiya okumala emyaka amakumi ana.
2
Waaliwo omusajja, erinnya lye Manowa, ow'e Zora, ow'omu kika kya Daani. Mukazi we yali mugumba.
3
Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi oyo n'amugamba nti: “Oli mugumba, tozaalanga ku mwana. Naye ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi.
4
Weekuume oleme kunywa ku mwenge, oba ku kitamiiza kyonna, wadde okulya ku kintu kyonna eky'omuzizo.
5
Era omwana ow'obulenzi gw'olizaala, taamwebwengako nviiri, kubanga omwana oyo aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto. Ye alitandika omulimu ogw'okununula Yisirayeli mu Bafilistiya.”
6
Awo omukazi n'agenda n'abuulira bba nti: “Omuntu wa Katonda azze gye ndi, ng'amaaso ge gatiisa ng'aga malayika wa Katonda. Simubuuzizza gy'avudde, era tambuulidde linnya lye.
7
Wabula aŋŋambye nti nja kuba olubuto, nzaale omwana wa bulenzi. Aŋŋambye obutanywa mwenge, wadde ekitamiiza ekirala kyonna, n'obutalya kintu na kimu eky'omuzizo, kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda obulamu bwe bwonna.”
8
Awo Manowa ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, nkwegayiridde, omuntu wa Katonda oyo gwe watumye, muleke adde gye tuli, atutegeeze kye tulikolera omwana, agenda okuzaalibwa.”
9
Katonda n'akola ekyo Manowa kye yasaba, malayika we n'adda eri omukazi bwe yali ng'atudde mu nnimiro, kyokka Manowa bba teyali naye.
10
Omukazi n'adduka mangu n'abuulira bba nti: “Laba, omusajja oli eyajja gye ndi olulala, era andabikidde!”
11
Monowa n'asituka n'agoberera mukazi we. N'agenda eri omusajja, n'amubuuza nti: “Ggwe musajja eyayogera ne mukazi wange?” N'addamu nti: “Ye nze.”
12
Manowa n'amubuuza nti: “Ebigambo byo bwe birituukirira, omwana alikola mulimu ki? Era obulamu bwe buliba bwa ngeri ki?”
13
Malayika wa Mukama n'addamu nti: “Mukazi wo yeegendereze okukola byonna bye namugamba.
14
Talyanga ku kintu kyonna ekiva ku mizabbibu. Tanywanga mwenge, wadde ekirala kyonna ekitamiiza. Era talyanga kya muzigo na kimu. Akwatanga byonna bye namulagira.”
15
Manowa teyamanya ng'oyo malayika wa Mukama, kyeyava amugamba nti: “Nkwegayiridde, sooka oleke okugenda, tukufumbireyo embuzi ento.” Kyokka malayika wa Mukama n'agamba nti: “Ne bwe siigende mangu, era sijja kulya ku mmere yo. Naye bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, osaanidde okukiwa Mukama.”
17
Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti: “Tubuulire erinnya lyo, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukusseemu ekitiibwa.”
18
Malayika wa Mukama n'amuddamu nti: “Obuuliza ki erinnya lyange? Linnya lya magero.”
19
Awo Manowa n'akwata embuzi ento n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'abiweerayo ku lwazi eri Mukama akola ebyamagero.
20
Ennimi z'omuliro bwe zaava ku alutaari, ne zitumbuka waggulu, Manowa ne mukazi we ne balaba malayika wa Mukama ng'ayambuka mu ggulu, ng'ayambukira mu nnimi ezo ez'omuliro. Awo Manowa n'amanya ng'oyo malayika wa Mukama. Ye ne mukazi we ne bavuunama ng'obwenyi butuukira ddala ku ttaka. Malayika wa Mukama teyaddamu kubalabikira.
22
Manowa n'agamba mukazi we nti: “Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda!”
23
Kyokka mukazi we n'addamu nti: “Singa Mukama abadde ayagala kututta, teyandikirizza ekiweebwayo kyaffe ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Era teyanditulaze bino byonna, wadde okutubuulira kaakano ebiri nga bino.”
24
Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma erinnya Samusooni. Omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa.
25
Omwoyo gwa Mukama ne gutandika okumuwa amaanyi ng'ali wakati wa Zora ne Estawoli mu Mahanedani.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21