bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 9
Judges 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
1
Abimeleki mutabani wa Yerubbaali, n'agenda e Sekemu ku bukojjaabwe, n'agamba abooluganda lwa nnyina bonna
2
okubuuza abantu b'e Sekemu nti: “Kiruwa kye musinga okusiima? Okufugibwanga batabani ba Yerubbaali ensanvu, oba omu okubafuganga? Mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.”
3
Abooluganda lwa nnyina ne bamutuusiza ebigambo ebyo byonna eri abantu b'e Sekemu. Abantu b'e Sekemu ne basalawo okugoberera Abimeleki, kubanga gwe baalinako oluganda.
4
Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza nsanvu, bye baggya mu ssabo lya Baali-Beriti. Ensimbi ezo Abimeleki ze yakozesa okupangisa abasajja abataliiko kye bagasa era abatabufutabufu, ne bamugoberera,
5
n'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofura, n'attirayo ku jjinja limu, baganda be ensanvu, batabani ba Yerubbaali. Naye Yotamu mutabani wa Yerubbaali asembayo obuto, ne yeekweka, n'atattibwa.
6
Abatuuze bonna ab'omu Sekemu n'ab'e Betimillo bonna, ne bakuŋŋaana, ne bafuula Abimeleki kabaka, wansi w'omuvule gw'e Sekemu.
7
Awo Yotamu bwe yakimanya, n'agenda n'ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'akangula eddoboozi, n'abalagiriza nti: “Mumpulire, mmwe abatuuze b'e Sekemu, Katonda alyoke abawulire mmwe.
8
Olwatuuka, emiti ne gigenda okulonda kabaka anaagifuganga. Ne gigamba omuti omuzayiti nti: ‘Ba kabaka waffe.’
9
Omuzayiti ne guddamu nti: ‘Ndekeyo okuvaamu omuzigo ogukozesebwa okussaamu ekitiibwa Katonda n'abantu, nzire mu kufuga emiti?’
10
Emiti ne gigamba omuti omutiini nti: ‘Jjangu ggwe, obe kabaka waffe.’
11
Naye omutiini ne gugamba nti: ‘Ndekerere okubala ebibala byange ebirungi era ebiwoomu, nzire mu kufuga emiti?’
12
Emiti ne gigamba omuzabbibu nti: ‘Jjangu ggwe, obe kabaka waffe.’
13
Naye omuzabbibu ne guddamu nti: ‘Ndekeyo okuvaamu omwenge gwange ogusanyusa Katonda n'abantu, nzire mu kufuga emiti?’
14
Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti: ‘Jjangu ggwe, obe kabaka waffe.’
15
Omweramannyo ne gugamba emiti nti: ‘Oba nga ddala mwagala okunfuula kabaka wammwe, kale mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye oba nga si ekyo, omuliro gunaava mu matabi gange ag'amaggwa, ne gumalawo emivule egy'oku Lebanooni.’
16
“Kale kaakano mwakola kituufu era kya bwenkanya okufuula Abimeleki kabaka? Mwajjukira ebirungi Gidiyoni bye yabakolera? Era ab'ennyumba ye mwabayisa bulungi nga bwe kisaanira?
17
Mujjukire nga kitange yabalwanirira, n'awaayo obulamu bwe, n'abawonya Abamidiyaani.
18
Naye mmwe olwaleero mwefuukidde ab'ennyumba ya kitange. Era batabani be, abantu ensanvu, mubattidde ku jjinja limu, Abimeleki mutabani w'omuzaana ne mumufuula kabaka wa Sekemu, kubanga ye wooluganda lwammwe.
19
Kale oba nga kye mukoze Yerubbaali n'ab'ennyumba ye kye kituufu era eky'obwenkanya, musanyukire Abimeleki era naye abasanyukire mmwe.
20
Naye oba nga si bwe kiri, omuliro guve mu Abimeleki gwokye ab'omu Sekemu n'ab'e Betimillo, era omuliro guve mu bantu b'omu Sekemu n'ab'e Betimillo, gwokye Abimeleki.”
21
Yotamu, olw'okutya muganda we Abimeleki, n'ayanguwa n'addukira e Beeri, n'abeera eyo.
22
Abimeleki n'afugira Yisirayeli emyaka esatu.
23
Awo Katonda n'akyawaganya Abimeleki n'abantu b'omu Sekemu. Ab'omu Sekemu ne basalira Abimeleki enkwe.
24
Ekyo kyabaawo, Abimeleki n'abantu b'e Sekemu, abaamuwagira okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, basasule omusango gwabwe.
25
Ab'omu Sekemu ne bassaawo abasajja okuteegeranga Abimeleki ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna ababayitako mu kkubo eryo. Kino Abimeleki ne bakimubuulira.
26
Awo Gaali mutabani wa Ebedi, n'ajja ne baganda be e Sekemu, abantu b'e Sekemu ne bamwesiga.
27
Bonna ne bagenda mu nnimiro zaabwe ez'emizabbibu ne bagisogola, ne bafumba embaga, ne bayingira mu ssabo lya lubaale waabwe, ne balya era ne banywa, ne boogera ebinyooma Abimeleki.
28
Gaali mutabani wa Ebedi n'agamba nti: “Tuli bantu ba ngeri ki mu Sekemu? Lwaki tuweereza Abimeleki? Ye ye ani? Si mutabani wa Yerubbaali? Ye ne Zebuli omumyuka we, si baweereza ba basajja ba Hamori, kitaawe wa Sekemu? Kale lwaki tumuweereza?
29
Era singa nze mukulembeze w'abantu bano, nandiggyeewo Abimeleki! Nandigambye Abimeleki nti: ‘Nyweza eggye lyo, weesowoleyo olwane.’ ”
30
Zebuli omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n'asunguwala.
31
N'atuma ababaka eri Abimeleki mu Aruma okumutegeeza nti: “Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu, era basekeeterera ekibuga okukulwanyisa.
32
Kale kaakano, ggwe n'abantu bo, mwandizinduse kiro ne muteega mu nnimiro.
33
Situka ku makya, enjuba nga ky'ejje eveeyo, olumbe ekibuga. Gaali n'abantu be bwe banaavaayo okukulumba, obakubire ddala nga bw'osobola.”
34
Awo Abimeleki ne bonna abaali naye ne bazinduka kiro, ne bateega ebweru wa Sekemu mu bibinja bina.
35
Abimeleki n'abaali naye bwe baalaba Gaali ng'afuluma n'ayimirira ku mulyango ogwa wankaaki w'ekibuga, ne basituka we baali bateegedde.
36
Gaali bwe yabalaba n'agamba Zebuli nti: “Laba abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi.” Zebuli n'addamu nti: “Olaba bisiikirize bya nsozi nga bifaanana ng'abantu.”
37
Gaali n'agamba nate nti: “Laba abantu bakkirira nga bayitira mu muwaatwa gw'olusozi, n'ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery'oku muvule gw'abalaguzi.”
38
Awo Zebuli n'alyoka amugamba nti: “Okwewaana kwo kuli ludda wa? Kubanga wagamba nti Abimeleki ye ani ffe okumuweereza? Bano be bantu be wanyooma. Kaakano weesowoleyo obalwanyise!”
39
Gaali n'akulembera abasajja ab'e Sekemu, n'afuluma n'alwanyisa Abimeleki.
40
Gaali n'adduka. Abimeleki n'amuwondera okutuuka ku mulyango gwa wankaaki. Bangi ne bagwa nga bafumitiddwa.
41
Abimeleki n'abeera mu Aruma. Zebuli n'agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu, baleme kubeerangamu.
42
Ku lunaku olwaddirira ne babuulira Abimeleki nti abantu bategeka okugenda mu nnimiro.
43
Awo n'atwala basajja be n'abagabanyaamu ebibinja bisatu, n'ateegera mu nnimiro, n'alinda. Bwe yalaba abantu nga bafuluma mu kibuga, n'avaayo gye yali yeekwese, n'abalumba.
44
Abimeleki n'ab'ekibinja ekyali naye, ne bafubutuka, ne bakuuma omulyango gwa wankaaki w'ekibuga. Ab'ebibinja ebibiri ne balumba abantu abaali mu nnimiro, ne babatta bonna.
45
Abimeleki n'azibya olunaku olwo ng'alwanyisa ekibuga, n'akiwamba, n'atta abantu baamu, n'akimenyaamenya, n'akiyiwamu omunnyo.
46
Abantu bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo, ne bayingira mu kinnya eky'omu ssabo lya Eluberiti.
47
Ne babuulira Abimeleki nti bonna bakuŋŋaanidde omwo.
48
Awo n'ayambuka ku Lusozi Zalumoni ne basajja be. N'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, n'alikwata, n'aliteeka ku kibegabega kye. N'alagira basajja be banguwe, nabo bakole nga bw'akoze.
49
Awo buli omu n'atema ettabi ku muti, n'agoberera Abimeleki. Ne batuuma amatabi ku kinnya kiri. Ne bakikumako omuliro. Abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu ne bafiiramu, abasajja n'abakazi nga lukumi.
50
Awo Abimeleki n'agenda e Tebezi, n'asiisira okwetooloola ekibuga ekyo, n'akiwamba.
51
Kyalimu ekigo eky'amaanyi. Abantu bonna ab'omu kibuga, abasajja n'abakazi, ne baddukira omwo, ne beggaliramu, ne balinnya mu kasolya.
52
Abimeleki bwe yajja okulumba ekigo, n'agenda ku mulyango, okwokya ekigo omuliro.
53
Naye omukazi omu n'asuula olubengo ku mutwe gwa Abimeleki, n'amwasa ekiwanga.
54
Abimeleki n'ayanguwa okuyita omulenzi eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, n'amulagira nti: “Sowola ekitala kyo, onzite, abantu balemenga okunjogerako nti omukazi ye yanzita.” Omulenzi we n'amufumita, n'afa.
55
Abayisirayeli bwe baalaba nga Abimeleki afudde, bonna ne baddayo ewaabwe.
56
Katonda bw'atyo bwe yasasula Abimeleki olw'omusango gwe yazza ku kitaawe ng'atta baganda be ensanvu.
57
Katonda era n'abonereza abantu b'omu Sekemu olw'ekibi kyabwe, ne Yotamu kye yabakolimira ne kituukirira.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21