bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 10
Judges 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
1
Abimeleki bwe yamala okufa, Tola mutabani wa Puwa era muzzukulu wa Dodo, n'ajja okununula Yisirayeli. Yali wa mu Kika kya Yissakaari, ng'abeera mu Samiri mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
2
N'aba omukulembeze wa Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n'afa ne bamuziika mu Samari.
3
Tola bwe yavaawo, ne waddawo Yayiri, eyava e Gileyaadi. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri.
4
Yalina batabani be amakumi asatu, abeebagalanga endogoyi amakumi asatu. Baalina ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gileyaadi, ebikyayitibwa Ebyalo bya Yayiri.
5
Yayiri yafa ne bamuziika mu Kamoni.
6
Abayisirayeli ne beeyongera nate okukola ebibi ne banyiiza Mukama, nga basinza Babbaali ne Asitarooti, ne balubaale b'e Siriya n'ab'e Sidoni, n'ab'e Mowaabu, ne balubaale b'Abammoni n'ab'e Filistiya. ne bava ku Mukama, ne batamuweereza.
7
Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli, n'aleka Abafilistiya n'Abammoni okubawangula.
8
Okumala emyaka kkumi na munaana, ne banyigiriza era ne bayigganya Abayisirayeli bonna abaali emitala w'omugga Yorudaani, mu nsi y'Abaamori, eri mu Gileyaadi.
9
Abammoni ne basomoka Omugga Yorudaani nabo okulwanyisa ekika kya Yuda n'ekya Benyamiini, n'ekya Efurayimu. Yisirayeli ne yeeraliikirira nnyo.
10
Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama nga bagamba nti: “Twayonoona mu maaso go, kubanga twakuvaako, ggwe Katonda waffe, ne tuweereza Babbaali.”
11
Mukama n'abaddamu nti: “Saabawonya Abamisiri, n'Abaamori, n'Abammoni n'Abafilistiya?
12
Era n'Abasidoni, n'Abamaleki n'Abamawoni baababonyaabonya mmwe, ne munkaabirira, ne mbabawonya.
13
Naye mwanvaako ne muweereza balubaale, kyenva ŋŋaana okuddamu okubanunula.
14
Mugende mukaabirire balubaale mu bizibu.”
15
Naye Abayisirayeli ne bagamba Mukama nti: “Twayonoona. Tukoleko kyonna ky'onoolaba nga kisaana, naye tukwegayiridde tununule.”
16
Ne beggyako balubaale abagwira, ne baweereza Mukama. N'alumwa omwoyo olw'okubonaabona kwa Yisirayeli.
17
Awo Abammoni ne bakuŋŋaana ne basiisira e Mizupa mu Gileyaadi.
18
Abantu abakulu ab'e Gileyaadi ne beebuuzaganya nti: “Ani anaakulembera olutalo lw'okulwanyisa Abammoni? Oyo ye aliba omukulembeze wa bonna mu Gileyaadi.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21