bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 20
Judges 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
1
Awo Abayisirayeli bonna, okuva ku Daani mu bukiika obwa kkono okutuuka ku Beruseba mu bukiikaddyo, n'okuva mu nsi y'e Gileyaadi mu buvanjuba, ekibiina kyonna ne kikuŋŋaana ng'omuntu omu, mu maaso ga Mukama e Mizupa.
2
Abakulembeze b'Ebika bya Yisirayeli byonna baaliwo mu lukuŋŋaana lw'abantu ba Katonda, abaserikale emitwalo ena abatambuza ebigere.
3
Mu kiseera ekyo ab'Ekika kya Benyamiini ne bawulira ng'Abayisirayeli abalala bakuŋŋaanidde e Mizupa. Abayisirayeli ne babuuza nti: “Tubuulire, omusango guno gwazzibwa gutya?”
4
Omuleevi bba w'omukazi eyattibwa, n'addamu nti: “Natuuka e Gibeya mu kitundu kya Benyamiini okusulayo, nga ndi wamu ne mukazi wange.
5
Abasajja b'e Gibeya ne bannumba ne bazingiza ennyumba mwe nali ekiro, okugyetooloola. Baali baagala okunzita, ne bakola eby'effujjo ku mukazi wange, n'afa.
6
Ne ntwala omulambo gwe, ne ngusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza ensi yonna eyagabanibwa Yisirayeli, kubanga baakola eky'ekivve era eky'obusirusiru mu Yisirayeli.
7
Kale Abayisirayeli mwenna, muteese mulabe eky'okukola.”
8
Abantu bonna ne basituka ng'omuntu omu, ne bagamba nti: “Tewali n'omu mu ffe anaddayo mu weema ye oba mu nnyumba ye.
9
Naye kye tunaakola Gibeya kye kino: tujja kugenda tukirwanyise nga tukubye akalulu.
10
Ekimu eky'ekkumi ku basajja mu Yisirayeli kijja kusakira eggye emmere, abalala bonna bagende babonereze Gibeya ekya Benyamiini, olw'ekikolwa kino eky'obugwenyufu, kye baakola mu Yisirayeli.”
11
Awo abasajja bonna ab'omu Yisirayeli ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu okulumba ekibuga.
12
Awo Ebika bya Yisirayeli ne bituma ababaka mu kitundu kya Benyamiini kyonna okubagamba nti: “Kibi ki kino kye mwakola?
13
Kale kaakano muweeyo abasajja abagwenyufu abaali mu Gibeya tubatte okuggyawo ekibi kino mu Yisirayeli.” Naye aba Benyamiini ne bagaana okuwuliriza Abayisirayeli bannaabwe abalala.
14
Ne bava mu bibuga bya Benyamiini byonna, ne bakuŋŋaanira mu Gibeya okulwanyisa Abayisirayeli abalala.
15
Mu bibuga byabwe ne bayitayo abaserikale emitwalo ebiri mu kakaaga ku lunaku olwo. Okwongereza ku abo, ab'e Gibeya ne bakuŋŋaanya abasajja lusanvu abalondemu.
16
Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvuumuulo akube oluviiri, n'atasubwa.
17
Ebika bya Yisirayeli ebirala ne bikuŋŋaanya abalwanyi abazira emitwalo amakumi ana.
18
Abayisirayeli ne beesitula ne bambuka e Beteli okusinza, ne babuuza Katonda nti: “Kika ki ekiba kisooka okulumba Ababenyamiini?” Ne Mukama n'addamu nti: “Ekika kya Yuda kye kiba kisooka.”
19
Ku lunaku olwaddako, Abayisirayeli ne bakeera mu makya, ne basiisira okumpi ne Gibeya.
20
Ne beesowolayo okulwanyisa Ababenyamiini. Ne basimba ennyiriri okulwanyisa ekibuga Gibeya.
21
Ababenyamiini ne bava Gibeya okulwana, ne batta abaserikale emitwalo ebiri ab'Abayisirayeli olunaku olwo.
22
Awo Abayisirayeli ne bataterebuka, ne basimba ennyiriri nate mu kifo mwe baazisimbye ku lunaku olwasooka.
23
Basooka kwambuka gye basinziza, ne bakungubagira mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi. Ne babuuza Mukama nti: “Tuddemu okulwanyisa baganda baffe Ababenyamiini?” Mukama n'addamu nti: “Mugende mubalwanyise.”
24
Ne boolekera Ababenyamiini olunaku olwokubiri.
25
N'Ababenyamiini ne bava mu Gibeya okubalwanyisa omulundi ogwokubiri. Ku mulundi guno, ne batta abaserikale ba Yisirayeli omutwalo gumu mu kakaaga.
26
Awo ab'eggye lyonna ery'Abayisirayeli ne bambuka e Beteli, ne bakungubaga. Ne babeera eyo mu maaso ga Mukama, ne batalya okutuusa akawungeezi. Ne bawaayo mu maaso ga Mukama ebitambiro ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana.
27
Mu biro ebyo, Essanduuko ey'Endagaano ya Katonda yabeeranga eyo e Beteli, era nga Finehaasi, mutabani wa Eleyazaari era muzzukulu wa Arooni ye agirabirira. Abayisirayeli ne babuuza Mukama nti: “Tuddemu nate okulwanyisa baganda baffe Ababenyamiini, nandiki tulekere awo?” Mukama n'addamu nti: “Mugende mulwane, kubanga enkya nja kuwaayo Ababenyamiini mu mikono gyammwe.”
29
Awo Abayisirayeli ne bateekawo abaserikale okuteega Gibeya ku njuyi zonna.
30
Awo ne bambuka okulwanyisa Ababenyamiini olunaku olwokusatu. Ne basimba ennyiriri zaabwe nga boolekedde Gibeya ng'olulala.
31
Ababenyamiini ne bavaayo okulwana, ne basikirizibwa okwesuula ekibuga. Ng'olulala, ne batandika okukubira n'okuttira abamu ku Bayisirayeli awatangaavu, ku luguudo olumu olwambuka e Beteli, ne ku lulala olugenda e Gibeya. Ne battayo Abayisirayeli ng'amakumi asatu.
32
Ababenyamiini ne bagamba nti: “Tubawangudde nga bwe twakola ku mirundi egyasooka.” Naye Abayisirayeli ne bagamba nti: “Tudduke, tubasikirize okwesuula ekibuga, badde mu nguudo.”
33
Abayisirayeli bonna ne baseguka mu kifo kyabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe e Baalitamari. Olwo Abayisirayeli abaateeze ne bafubutuka mu bifo byabwe ebugwanjuba wa Gibeya.
34
Abasajja lukumi abaalondebwa mu Yisirayeli yonna, ne balumba Gibeya. Ne balwana nnyo. Naye Ababenyamiini baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi.
35
Mukama n'awa Yisirayeli okuwangula Ababenyamiini ku lunaku olwo, Abayisirayeli ne batta abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi ku balwanyi Ababenyamiini.
36
Awo Ababenyamiini ne bamanya nga bawanguddwa. Abayisirayeli baasegulira Ababenyamiini, kubanga baali beesiga abateezi, be baateegesa ku Gibeya.
37
Abateezi bano badduka mangu, ne bazinda Gibeya, ne batta abaakirimu bonna.
38
Eggye ly'Abayisirayeli n'abateezi, baali balagaanye akabonero, nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga,
39
Abayisirayeli abali mu ddwaniro nga bakyusa. Olwo Ababenyamiini baali bamaze okutta Abayisirayeli ng'amakumi asatu. ne bagambagana nti: “Tubawangudde, nga bwe twakola mu kulwanagana okwasooka.”
40
Naye olwo akabonero ne kalabika. Ekire ky'omukka ekiri ng'empagi ne kinyooka okuva mu kibuga okutuuka ku ggulu. Ababenyamiini bwe baakyuka okutunula emabega, ne balaba ekibuga kyonna nga kiggya.
41
Awo Abayisirayeli ne bakyuka. Ababenyamiini ne bawuniikirira nga balaba akabi kabatuuseeko!
42
Awo ne bakuba Abayisirayeli amabega, baddukire mu kkubo eriraga mu ddungu, naye nga tebalina gye badda! Ne bakwatibwa wakati w'eggye ly'Abayisirayeli n'abateezi abaali bava mu kibuga, ne bazikirizibwa.
43
Abayisirayeli ne bazingiza Ababenyamiini enjuyi zonna, ne babawondera awatali kuweera, okutuusa mu kitundu eky'ebuvanjuba wa Gibeya, nga bagenda babatta.
44
Mu Babenyamiini ne mufaamu abalwanyi abazira omutwalo gumu mu kanaana.
45
Abalala ne bakyuka ne badduka nga badda awatangaavu, nga boolekedde Olwazi lwa Rimmoni. Enkumi ttaano ne battibwa ku luguudo. Abayisirayeli ne bongera okuwondera abaasigaddewo, okutuuka e Gidoma, ne babattamu enkumi bbiri.
46
Bwe batyo Ababenyamiini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira.
47
Naye abasajja lukaaga be baasobola okuddukira awatangaavu ne batuuka ku Lwazi lwa Rimmoni, ne babeera eyo emyezi ena.
48
Abayisirayeli ne bakyuka nate okulwanyisa Ababenyamiini abaasigalawo, ne babatta bonna, abasajja n'abakazi, n'abaana abato, obutataliza wadde ensolo. Era ne bookya ebibuga byonna mu kitundu ekyo.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21