bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 12
Judges 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
1
Abeefurayimu ne bategeka olutalo, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne bajja e Zafoni, ne bagamba Yefuta nti: “Lwaki wasala ensalo n'ogenda okulwanyisa Abammoni, n'ototuyita kugenda naawe? Tujja kukwokera mu nnyumba yo!”
2
Yefuta n'abagamba nti: “Nze n'abantu bange twalina enkaayana ey'amaanyi n'Abammoni. Nabayita mmwe, naye ne mutajja kubamponya.
3
Bwe nalaba nga temunziruukiridde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nsala ensalo okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa okubawangula. Kale lwaki mujja gye ndi okunnwanyisa?”
4
Awo Yefuta n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gileyaadi, n'alwanyisa Abefurayimu n'abagoba. Abeefurayimu baali bagamba nti: “Mmwe Abagileyaadi mu Efurayimu ne mu Manasse, mwadduka ku Efurayimu.”
5
Abagileyaadi okuziyiza Abeefurayimu okutoloka, beekwata ebifo byonna, Omugga Yorudaani we guyinza okusomokerwa. Buli Mwefurayimu eyajjanga n'asaba bamukkirize okusomoka, nga bamubuuza nti: “Oli Mwefurayimu?” Bwe yaddangamu nti: “Nedda”,
6
ne bamugamba ayogere nti: “Shibboleti,” n'ayogera nti: “Sibboleti,” kubanga teyayinzanga kukyatula bulungi, nga bamukwata, nga bamuttira ku emu ku nsomoko za Yorudaani. Mu biro ebyo, Abeefurayimu emitwalo ena mu enkumi bbiri ne battibwa.
7
Yefuta n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka mukaaga, n'afa, ne bamuziika mu kimu ku bibuga by'omu Gileyaadi.
8
Yefuta bwe yavaawo, Yibuzaani ow'e Betilehemu n'akulembera Yisirayeli.
9
Yalina batabani be amakumi asatu, ne bawala be amakumi asatu. N'afumbiza bawala be abo mu bika ebirala. N'aggya abawala amakumi asatu mu bika ebirala, n'abawasiza batabani be. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka musanvu,
10
n'afa, ne bamuziika mu Betilehemu.
11
Yibuzaani bwe yavaawo, Eloni Omuzebbulooni n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka kkumi,
12
n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
13
Eloni bwe yavaawo, Abudooni mutabani wa Hilleli Omupiratoni n'akulembera Yisirayeli.
14
Yalina batabani be amakumi ana, ne bazzukulu be amakumi asatu, abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu. Abudooni yakulembera Yisirayeli okumala emyaka munaana,
15
n'afa, ne bamuziika mu Piratoni, mu nsi ya Efurayimu, mu kitundu ky'Abamaleki eky'ensozi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21