bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 6
Judges 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
1
Abayisirayeli era ne bakola ebibi, ne banyiiza Mukama, Mukama n'abaleka okufugibwa Abamidiyaani okumala emyaka musanvu.
2
Midiyaani n'esinga nnyo Yisirayeli amaanyi, Abayisirayeli ne beekweka mu mpuku ne mu bifo ebirala ebyekusifu mu nsozi.
3
Kubanga Abayisirayeli buli lwe baamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba baasitukiranga wamu ne babalumba.
4
Baabazindanga ne bazikiriza ebirime byabwe, okutuukira ddala okumpi n'e Gaaza, ne batalekangawo kyakulya mu Yisirayeli, wadde endiga oba ente oba endogoyi.
5
Bajjanga n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, nga bali ng'enzige ezitabalika obungi, bo bennyini n'eŋŋamiya zaabwe, ne bayingira mu nsi, ne bagizikiriza.
6
Yisirayeli n'ejeezebwa nnyo Midiyaani.
7
Awo Abayisirayeli bwe baalaajanira Mukama olw'Abamidiyaani,
8
Mukama n'atuma omulanzi eri Abayisirayeli, n'abagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nabaggya mu Misiri gye mwali mufugibwa obuddu.
9
Era nabawonya obuyinza bw'Abamisiri n'obuyinza bw'abo bonna abaabajoogeranga mu nsi eno mwe muli. Abo ne mbagobamu nga mmwe mujja, ensi yaabwe ne ngigabira mmwe.
10
Ne mbagamba mmwe nti nze Mukama Katonda wammwe. Temuusinzenga balubaale b'Abaamori bannannyini nsi gye mulimu. Naye temwawulira kye mbagamba.’ ”
11
Awo Malayika wa Mukama n'ajja n'atuula wansi w'omuvule gw'e Ofura ogwa Yowaasi Omwabiyezeeri. Gidiyoni mutabani wa Yowaasi oyo, yali ng'awuula eŋŋaano mu ssogolero ly'emizabbibu, okugikisa Abamidiyaani.
12
Malayika wa Mukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi, omuzira.”
13
Gidiyoni n'amugamba nti: “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako ebyo byonna? Era ebyamagero bye yakolanga biri ludda wa, bajjajjaffe bye baatunyumizanga nti Mukama yabaggya mu Misiri? Naye kaakano Mukama atusudde era atuwaddeyo mu buyinza bwa Midiyaani.”
14
Mukama n'akyukira Gidiyoni n'agamba nti: “Genda n'amaanyi go ago gonna, oggye Yisirayeli mu buyinza bwa Midiyaani, nze nkutumye.”
15
Gidiyoni n'amugamba nti: “Mukama wange, Yisirayeli ndimununuza ki? Baganda bange be basinga obutaba na maanyi mu Manasse, ate nze muto mu nnyumba ya kitange.”
16
Mukama n'amugamba nti: “Mazima nja kubeera wamu naawe, era ojja kwanguyirwa okuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.”
17
Gidiyoni n'addamu nti: “Oba nga onsiimye, mpa akabonero akalaga nga ggwe ayogera nange, ggwe Mukama.
18
Nkwegayiridde tova wano, mmale okukuleetera ekirabo.” N'agamba nti: “Nja kubeera wano okutuusa lw'onookomawo.”
19
Awo Gidiyoni n'ayingira mu nnyumba, n'afumba embuzi ento, era n'agoya kilo kkumi ez'obuwunga n'akolamu emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'omukyuzi n'agufuka mu kibya, n'abireeta eri malayika wa Mukama, n'abimuweera wansi w'omuvule.
20
Malayika wa Mukama n'amulagira nti: “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukusiddwa obiteeke ku jjinja lino, obifukeko omukyuzi.” Gidiyoni n'akola bw'atyo.
21
Awo malayika wa Mukama n'asitula ekikolo ky'omuggo gwe yali akutte, n'akoona ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukusiddwa, omuliro ne guva mu jjinja, ne gwokya ennyama n'emigaati. Malayika wa Mukama n'abula.
22
Gidiyoni n'amanya nga gw'alabye abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti: “Zinsanze, ayi Mukama, Katonda, kubanga ndabye malayika wo maaso na maaso!”
23
Mukama n'amugamba nti: “Emirembe gibe naawe, leka kutya. Togenda kufa.”
24
Gidiyoni n'azimbira Mukama alutaari mu kifo ekyo, n'agiyita “Mukama gye mirembe”. N'okutuusa kati gyeri mu Ofura eky'Ababiyezeeri.
25
Mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Kwata ente ya kitaawo ennume, n'ente endala ennume ey'emyaka omusanvu, omenyewo alutaari, kitaawo gye yazimbira Baali, otemeeteme n'empagi ya Asera eri okumpi nayo.
26
Ozimbire Mukama Katonda wo alutaari waggulu ku kigo kino, ng'okozesa amayinja agatereezeddwa obulungi. Oddire ente eyo eyookubiri ogyokye, ng'okozesa enku ez'empagi ya Asera gy'otemye, ebe ekitambiro ekiweebwayo.”
27
Awo Gidiyoni n'atwala abasajja kkumi ku baweereza be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde. Olw'okutya ab'ennyumba ya kitaawe n'ab'omu kibuga, n'atayinza kukikola misana, wabula n'akikola ekiro.
28
Abantu ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkeera ku makya, ne balaba ng'alutaari ya Baali emenyeddwawo, n'empagi ya Asera egibadde okumpi ng'etemeddwawo, nga n'ente ennume eyookubiri eyokeddwa ku alutaari ezimbiddwawo.
29
Ne beebuuzaganya nti: “Ani akoze kino?” Awo bwe baabuuliriza, ne bazuula nga Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi ye akikoze.
30
Awo ne bagamba Yowaasi nti: “Fulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye alutaari ya Baali era atemyewo empagi ya Asera egibadde okumpi.”
31
Kyokka Yowaasi bonna abaamulumba n'abagamba nti: “Mwagala okuworereza Baali? Oba mwagala kumulwanirira? Buli ayagala okumuwolereza wa kuttibwa nga tebunnakya nkya. Oba nga Baali lubaale, yeewolereze, kubanga alutaari emenyeddwa yiye.”
32
Okuva olwo Gidiyoni n'ayitibwa Yerubbaali, kubanga Yowaasi yagamba nti: “Baali yeewolereze, kubanga alutaari ye gye bamenye.”
33
Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abatuuze b'Ebuvanjuba ne bakuŋŋaana, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezireeli.
34
Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidiyoni, n'afuuwa eŋŋombe okuyita Ababiyezeri okujja gy'ali.
35
N'atuma ababaka mu bitundu bya Manasse byombi okuyita abaayo bamwegatteko. N'atuma n'ababaka eri ab'Ekika kya Aseri n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, Ne bajja ne bamwegattako.
36
Awo Gidiyoni n'agamba Katonda nti: “Oba ng'onoolokola Yisirayeli ng'okozesa nze nga bwe wagamba,
37
kale nja kuteeka ebyoya by'endiga mu gguuliro ly'eŋŋaano. Ku makya omusulo bwe gunaaba ku byoya kwokka, ettaka nga kkalu, nja kumanya ng'onoonunula Yisirayeli ng'okozesa nze.”
38
Bwe kityo bwe kyaba. Gidiyoni bwe yazuukuka enkeera ku makya, n'akamula ebyoya by'endiga okubimalamu omusulo, ne bivaamu amazzi, ne gajjuza ekibya.
39
Gidiyoni n'agamba Katonda nti: “Tonsunguwalira, leka njogereyo omulundi gumu gwokka. Nzikiriza ngezese ebyoya by'endiga omulundi gumu gwokka. Ku mulundi guno, ebyoya by'endiga bibe bikalu, ettaka lye liba litoba omusulo.”
40
Ekiro ekyo, Katonda n'akola bw'atyo. Enkeera ku makya ebyoya by'endiga byokka bye byali ebikalu, ettaka lyonna nga lye litobye omusulo.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21