bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 5
Judges 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
1
Ku lunaku olwo, Debora ne Baraki mutabani wa Abinowamu, ne bayimba oluyimba luno nti:
2
Mutendereze Mukama, kubanga abakulembeze mu Yisirayeli baamalirira okulwana, era n'abantu ne beewaayo nga beeyagalidde.
3
Muwulire mmwe bakabaka, mutege amatu mmwe abafuzi: nze nnyimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli.
4
Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri n'ova mu Edomu okutabaala, ensi yakankana n'eggulu ne litonnyesa enkuba ng'efukumuka okuva mu bire!
5
Ensozi zaakulukutira mu maaso ga Mukama w'e Sinaayi, Mukama Katonda wa Yisirayeli.
6
Mu mirembe gya Samugari mutabani wa Anati, mu mirembe gya Yayeli enguudo zeewalibwanga, ng'abatambuze bayita mu mpenda.
7
Ebyalo byakala, byaggwaamu abantu, okutuusa ggweDebora lwe wajja nga nnyina wa Yisirayeli.
8
Abayisirayeli bwe baasenga balubaale abaggya, olwo ne wabaawo olutalo mu Yisirayeli. Mu basajja emitwalo ena mu Yisirayeli, waliwo eyatabaala n'engabo oba n'effumu?
9
Nsanyukira abakulembeze ba Yisirayeli, era n'abantu abeewaayo nga beeyagalidde. Mwebaze Mukama.
10
Mukyogereko mmwe abeebagala endogoyi enjeru, mmwe abatuula ku biwempe ebidalize, nammwe abatambula mu nguudo.
11
Muwulirize eddoboozi ly'abali ku nzizi z'amazzi! Boogera ku buwanguzi Mukama bwe yawa Abayisirayeli. Awo abantu ba Mukama ne bakumba nga balaga ku miryango.
12
Situka, situka Debora, situka okoleeze oluyimba! Weesowoleyo Baraki mutabani wa Abinowamu, kulemberamu abasibe b'owambye!
13
Awo abakungu abeesigwa ne baserengeta nga bali wamu ne Mukama okulwanyisa ab'amaanyi.
14
Mu Efurayimu n'evaayo abasibuka mu Ameleki ne bagoberera ab'omu Kika kya Benyamiini. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate n'e Zebbulooni n'evaayo abakungu abasimbisa ennyiriri.
15
N'abakulembeze ba Yissakaari ne bajja ne Debora nga bali bumu ne Baraki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'omu Kika kya Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda.
16
Baasigalira ki mu bisibo by'endiga okuwuliriza emirere gye bafuuyira amagana? Aba Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda.
17
Ab'omu Kika kya Gaadi baasigala mitala wa Yorudaani. Ab'omu Kika kya Daani baasigalira ki mu maato? Ab'omu Kika kya Aseri baasirikira eri ku lubalama lw'ennyanja, beesigalira ku mwalo.
18
Ab'omu Kika kya Zebbulooni n'ab'omu Kika kya Nafutaali be baaguma ne beewaayo okufiira mu lutalo.
19
Bakabaka baalwanira e Taanaki ku mazzi g'e Megiddo. Bakabaka b'e Kanaani baalwana, ne batafuna munyago gwa nsimbi.
20
Emmunyeenye mu bbanga zaalwana mu lugendo lwazo, zaalwanyisa Sisera.
21
Engezi ya Kisoni omugga ogwo ogw'edda, yabakuluggusa. Nze nkumba nga ntambuza maanyi!
22
Olwo embalaasi ne ziduma, ng'ebinuulo byazo bisambirira ettaka!
23
Malayika wa Mukama agamba nti: “Mukolimire Merozi mukolimire n'abatuuze baamu, kubanga tebadduukirira Mukama mu kulwanyisa ab'amaanyi.”
24
Abakazi abasula mu weema Yayeli muka Heberi Omukeeni bonna ye abasinga omukisa.
25
Sisera yasaba mazzi, Yayeli n'amuwa mata. Yamuweera amata amasunde mu kibya eky'ekikungu.
26
Yakwata mu mukono gwe ogumu enkondo, n'akwata ennyondo mu mukono gwe omulala, n'akomerera Sisera, enkondo n'eyita mu kiwanga kya Sisera.
27
N'akka ku maviivi ge n'awanattuka n'agwa! Awo wansi w'agudde we yasigala ng'afudde.
28
Nnyina Sisera yalingiriza ng'atunuulira mu ddirisa, n'asitula eddoboozi n'abuuza nti: “Embalaasi ze ekizikeereyezza kiki? Lwaki amagaali ge galuddewo okudda?”
29
Abakyala be ab'amagezi nabo ne bamwanukula kennyini kye yeddiramu nti:
30
“Baluddeyo lwa munyago gwe bakuŋŋaanya bagabane: buli musajja omuwala omu oba babiri. Engoye ennungi za Sisera, nfuneyo ez'emidalizo nange.”
31
Bwe batyo abalabe bo ayi Mukama bazikirirenga bonna. Naye abakwagala bonna baakaayakane ng'enjuba evayo. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21