bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 14
Judges 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
1
Olumu Samusooni n'aserengeta e Timuna, n'alaba omuwala Omufilistiya,
2
n'addayo eka, n'agamba kitaawe ne nnyina nti: “Ndabye omuwala Omufilistiya e Timuna. Kale mumpasize oyo.”
3
Naye kitaawe ne nnyina ne bamubuuza nti: “Lwaki ogenda okuwasa omukazi mu Bafilistiya abatali bakomole? Tewali muwala mu ba kika kyaffe, wadde mu bantu baffe bonna?” Naye Samusooni n'agamba kitaawe nti: “Mpasiza oyo, kubanga gwe nsiimye.”
4
Naye kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nga Mukama ye yasindika Samusooni okukola ekyo, kubanga yali anoonya ensonga okulwanyisa Abafilistiya. Mu biro ebyo, Abafilistiya nga be bafuga Yisirayeli.
5
Awo Samusooni n'aserengeta ne kitaawe ne nnyina e Timuna. Bwe baali bayita mu nnimiro z'emizabbibu, n'awulira empologoma envubuka ng'ewuluguma.
6
Amangwago omwoyo gwa Mukama ne gumuwa amaanyi, n'agitaagulataagula, ng'ataagulataagula embuzi ento, nga talina kintu mu ngalo ze. Kyokka n'atabuulira bazadde be ky'akoze.
7
N'agenda n'anyumya n'omuwala, n'amusiima.
8
Ebbanga bwe lyayitawo, n'addayo okumuleeta. N'akyama okulaba empologoma gye yatta. Mu mulambo gwayo n'asangamu enjuki n'omubisi gwazo.
9
N'agutoolako n'engalo ze, n'agulya ng'atambula. N'agenda eri kitaawe ne nnyina, n'abawaako ne balya. Kyokka n'atababuulira ng'omubisi aguggye mu mulambo gw'empologoma.
10
Kitaawe n'agenda mu maka g'omuwala, Samusooni n'akolerayo embaga, kubanga abawasa bwe batyo bwe baakolanga.
11
Abafilistiya bwe baamulaba, ne baweereza abavubuka amakumi asatu okubeera naye.
12
Samusooni n'abagamba nti: “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe muliyinza okukitegeera ne mukinzivuunula, ennaku omusanvu ez'embaga nga tezinnaggwaako, ndibawa engoye ennungi amakumi asatu, n'ebyambalo amakumi asatu eby'oku mbaga.
13
Naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe mulimpa engoye ennungi amakumi asatu, n'ebyambalo amakumi asatu eby'oku mbaga.” Ne bamugamba nti: “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
14
N'agamba nti: “Mu mulyi mwavaamu ekyokulya. Mu w'amaanyi mwavaamu ekiwoomerevu!” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvuunula ekikokko.
15
Ku lunaku olwokuna, ne bagamba muka Samusooni nti: “Sendasenda balo atuvvuunule ekikokko. Bw'otookikole, tujja kukwokya ggwe, n'ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutwavuwaza?”
16
Muka Samusooni n'agenda gy'ali ng'akaaba amaziga, n'agamba nti: “Tonjagala, onkyawa bukyayi! Wakokkera ab'eggwanga lyange ekikokko, n'otombuulira kye kitegeeza!” N'amugamba nti: “Saabuulira kitange wadde mmange, ggwe nnaabuulira?”
17
Omukazi n'akaabanga olw'ekyo buli lunaku, okumalako ennaku omusanvu ez'embaga. Ku lunaku olw'omusanvu n'amubuulira, kubanga yamwetayirira nnyo. Omukazi n'abuulira ab'eggwanga lye.
18
Ku lunaku olw'omusanvu, abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Samusooni enjuba nga tennagwa nti: “Ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu kiki? N'empologoma kiki ekigisinga amaanyi?” Samusooni n'addamu nti: “Singa temwalimya nte yange n'ekikokko kyange temwandikivumbudde!”
19
Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'aserengeta e Asukelooni, n'attayo abasajja amakumi asatu, n'abambula, engoye zaabwe n'aziwa abasajja abavvuunula ekikokko kye. Obusungu ne bumutikka, n'addayo mu maka ga kitaawe.
20
Mukazi we ne bamuwa munne, eyali mukwano gwe ennyo.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21