bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 18
Judges 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
1
Mu biseera ebyo, tewaali kabaka mu Yisirayeli. Mu nnaku ezo ab'Ekika kya Daani baali bakyanoonya ekitundu eky'okubeeramu, baali tebannafuna kitundu kyabwe mu Bika bya Yisirayeli.
2
Awo ab'omu Kika kya Daani bonna ne beerondamu abasajja abazira bataano, ne babatuma okuva mu Zora ne mu Esutawoli okuketta ensi n'okugyetegereza. Bwe baatuuka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, ne babeera mu nnyumba ya Mikka.
3
Bwe baali bali eyo, ne beetegereza enjogera y'omuvubuka Omuleevi, ne bamutuukirira, ne bamubuuza nti: “Okola ki wano? Era ani yakuleeta wano?”
4
N'addamu nti: “Twategeeragana ne Mikka: ampa empeera, ne mba kabona we.”
5
Ne bamugamba nti: “Tukwegayiridde, buuza Katonda atumanyise oba ng'olugendo lwaffe lunaaba n'omukisa.”
6
Kabona n'abagamba nti: “Temweraliikirira, Mukama abalabirira mu lugendo lwammwe.”
7
Awo abasajja abo abataano ne bagenda, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng'abantu baayo bali mirembe ng'ab'e Sidoni bwe bali. Baali bakkakkamu, nga ba mirembe, nga balina byonna bye beetaaga. Baali beesudde nnyo Abasidoni, era nga tewali bantu balala be bakolagana nabo.
8
Abasajja abataano bwe baddayo e Zora, ne Esutawoli, baganda baabwe ne bababuuza bye bazudde.
9
Ne baddamu nti: “Musituke, tugende tulumbe Layisi. Ensi tumaze okugiraba, nnungi nnyo. Temugayaalira wano. Mwanguwe! Mugende mugiwambe.
10
Bwe munaatuukayo, mujja kusanga abantu nga tebalina ke beekengera. Ensi ngazi. Erimu buli kintu, omuntu ky'ayinza okwetaaga. Katonda amaze okugigabula mu mikono gyammwe.”
11
Awo abasajja lukaaga ab'omu Kika kya Daani ne basitula okuva e Zora ne Esutawoli, nga balina ebyokulwanyisa.
12
Ne bambuka, ne basiisira mu bukiikaddyo obwa Kiriyati Yaarimu mu Buyudaaya. Kyebava bayita ekifo ekyo Enkambi ya Daani n'okutuusa kati.
13
Ne bavaayo, ne batuuka ku nnyumba ya Mikka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
14
Abasajja abataano abaali bagenze okuketta ensi y'e Layisi, ne bagamba bannaabwe nti: “Mubadde mumanyi nga mu emu ku nnyumba zino mulimu ekifaananyi ekyole, ekibikkiddwako ffeeza? Mulimu n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, era n'ekkanzu. Kale nno mulowooze kye mugwanira okukola.”
15
Awo ne bayingira mu nnyumba ya Mikka, omuvubuka Omuleevi mwe yabeeranga, ne bamubuuza nga bw'ali.
16
Olwo abasajja bali olukaaga ab'omu Kika kya Daani abalina ebyokulwanyisa, baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki
17
Abasajja abataano abakessi ne bambuka, ne bayingira mu nnyumba, ne batwala ekifaananyi ekyole, ekibikkiddwako ffeeza, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, n'ekkanzu, nga kabona ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki, wamu n'abasajja olukaaga, abalina ebyokulwanyisa.
18
Abasajja bali bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka, ne baggyamu ekifaananyi ekyole, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, era n'ekkanzu, kabona n'ababuuza nti: “Mukola ki?”
19
Ne bamuddamu nti: “Sirika, tonyega! Jjangu naffe, obeere kabona waffe. Tekisinga okuba kabona w'Ekika ky'Abayisirayeli ekiramba, mu kifo ky'okuba kabona w'ennyumba y'omuntu omu?”
20
Kabona n'asanyuka, n'atwala ekkanzu n'ekifaananyi ekyole, n'ebifaananyi ebirala ebya balubaale, n'agenda wamu nabo.
21
Awo ne bakyusa, ne bagenda nga bakulembezzaamu abaana abato n'ensolo n'ebintu.
22
Bwe baali batambudde olugendo oluwerako okuva ku nnyumba ya Mikka, Mikka n'ayita baliraanwa be, ne bawondera era ne batuuka ab'omu Kika kya Daani,
23
ne babakoowoola. Ab'omu Kika kya Daani ne bakyuka ne batunula emabega, ne bagamba Mikka nti: “Obadde otya okujja n'ekibiina ekinene bwe kityo?”
24
Mikka n'addamu nti: “Munzigyeeko kabona ne balubaale bange be nakola ne mubatwala, ne sisigaza kantu! Kale ate mumbuuza mutya nti: Obadde otya?”
25
Ab'omu Kika kya Daani ne bagamba nti: “Ekisinga, toyongera kwogera, sikulwa ng'abasajja bano abakambwe bakulumba ne bakutta ggwe n'ab'omu nnyumba yo.”
26
Ab'omu Kika kya Daani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamusinze nnyo amaanyi, n'akyuka n'addayo ewuwe.
27
Ab'omu Kika kya Daani bwe baamala okutwala ebintu bya Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne balumba Layisi, ekibuga eky'abantu abakkakkamu ab'emirembe, ne babatta, ekibuga ne bakyokya omuliro.
28
Tewaaliwo bajja kubataasa, kubanga Layisi kyali mu kiwonvu ekiriraanye Beturihobu, nga kyesudde nnyo Sidoni, ate ng'abaayo tewali bantu balala be bakolagana nabo. Ab'omu Kika kya Daani ne bazimba buggya ekibuga, ne babeera omwo.
29
Erinnya ly'ekibuga eryali Layisi ne balikyusa, ne bakituuma Daani mutabani wa Yakobo.
30
Abadaani ne basimba ekifaananyi kiri ekyole okukisinzanga. Yonataani mutabani wa Gerusoomu, era muzzukulu wa Musa n'aba kabona waabwe. Ye n'abasika be, ne baba bakabona mu b'Ekika kya Daani, okutuusa abantu lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
31
Ekifaananyi, Mikka kye yalina, ne kisigalawo ebbanga lyonna, Weema ya Katonda lye yabeerawo mu Siilo.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21