bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 17
Judges 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
1
Waliwo omusajja erinnya lye Mikka, eyali ow'omu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
2
N'agamba nnyina nti: “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi bye baakutwalako n'okolima nga mpulira, nze nabitwala era mbirina.” Nnyina n'agamba nti: “Mukama akuwe omukisa, mwana wange.”
3
Omusajja n'azza ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi eri nnyina. Nnyina n'agamba nti: “Okuggya ekikolimo ku mwana wange, mponga eri Mukama ffeeza ono, akolebwemu ekifaananyi ekyole ekibikkiddwako ffeeza omusaanuuse. Kale kaakano ffeeza mmukuddiza.”
4
Awo Mikka bwe yazza ebitundu bya ffeeza eri nnyina, nnyina n'atoolako ebitundu ebikumi bibiri, n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'akola ekifaananyi ekyole, n'akibikkako ffeeza, ekifaananyi ekyo ne kiteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
5
Omusajja oyo Mikka, yalina essinzizo lye. N'akola ebifaananyi eby'okusinza. N'ayawula omu ku batabani be, n'afuuka kabona we.
6
Mu kiseera ekyo, tewaali kabaka mu Yisirayeli. Buli muntu yakolanga nga bw'alaba.
7
Kale waaliwo omuvubuka Omuleevi, eyali abeera mu Betilehemu mu Buyudaaya.
8
N'avaayo n'anoonya awalala gy'anaabeera. Bwe yali ng'atambula, n'atuuka ku nnyumba ya Mikka mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
9
Mikka n'amubuuza nti: “Ova wa?” N'addamu nti: “Ndi Muleevi w'e Betilehemu. Nnoonya walala gye nnyinza okubeera.”
10
Mikka n'amugamba nti: “Beera nange, obeere omubuulirizi era kabona wange. Nnaakuwanga ebitundu kkumi ebya ffeeza omwaka, n'ebyokwambala n'ebyokulya.”
11
Awo omulenzi Omuleevi n'akkiriza okubeera mu nnyumba y'omusajja oyo; era n'abeerera ddala ng'omu ku batabani be.
12
Mikka n'amuteekawo abeere kabona we, omulenzi oyo Omuleevi, n'abeera mu nnyumba ya Mikka.
13
Mikka n'agamba nti: “Kaakano nga bwe nnina Omuleevi nga ye kabona wange, mmanyi nga Mukama ajja kunkolera ebirungi.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21