bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 8
Judges 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
1
Awo abasajja b'Efurayimu ne bagamba Gidiyoni nti: “Lwaki watuyisa bw'otyo obutatuyita ng'ogenda okulwanyisa Abamidiyaani?” Ne bamunenya nnyo.
2
Ye n'abagamba nti: “Kye nakola tekiriiko bwe kiri bw'okigeraageranya n'ekyo mmwe kye mukoze. Mmwe aba Efurayimu kye mukoze kisingira ddala ekyo ffe ab'ennyumba ya Abiyezeeri kye tukoze.
3
Katonda abawadde mmwe okutta abalangira ba Midiyaani ababiri Orebu ne Zeebu. Kale nze nkoze ki ekyenkanankana n'ekyo?” Bwe yamala okwogera ebyo, obusungu bwabwe ne bukkakkana.
4
Olwo Gidiyoni ne basajja be ebikumi ebisatu ne batuuka ku Mugga Yorudaani, ne bagusomoka nga bakooye, naye nga bakyawondera omulabe.
5
Bwe yatuuka e Sukkoti, n'agamba abaayo nti: “Mbeegayiridde, basajja bange mubawe ku mmere, kubanga bakooye, ate nga mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka Abamidiyaani.”
6
Abakulembeze mu Sukkoti ne bagamba nti: “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tuliwe emmere?”
7
Gidiyoni n'agamba nti: “Kale, Mukama bw'alimala okuwaayo Zeba ne Zalumunna mu mikono gyange, ndibakubisa amaggwa n'emyeramannyo eby'omu ttale.”
8
Gidiyoni n'avaayo, n'ayambuka e Penweli, n'abantu baayo n'abasaba ekintu kye kimu. Naye ab'omu Penweli ne bamuddamu mu ngeri ye emu ng'ab'e Sukkoti.
9
Ab'eyo bo n'abagamba nti: “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala gwammwe guno.”
10
Zeba ne Zalumunna baali mu Karukori n'eggye lyabwe. Ku ggye lyonna ery'abasajja b'ebuvanjuba, omutwalo gumu mu enkumi ttaano be baali basigaddewo. Abalwanyi emitwalo kkumi n'ebiri baali battiddwa.
11
Gidiyoni n'ayambukira mu kkubo ery'ebuvanjuba bwa Noba ne Yogubeha, n'alumba, eggye nga terimulindiridde.
12
Bakabaka bombi Abamidiyaani Zeba ne Zalumunna ne badduka, kyokka Gidiyoni n'abawondera n'abakwata, n'atiisa eggye lyabwe lyonna.
13
Gidiyoni bwe yali ng'akomawo okuva mu lutalo, ng'ayambuka mu Aresi,
14
n'awamba omuvubuka w'e Sukkoti, n'abaako by'amubuuza. Omuvubuka n'awandiikira Gidiyoni amannya nsanvu mu musanvu ag'abakungu n'abakulembeze mu Sukkoti.
15
Awo Gidiyoni n'agenda eri ab'e Sukkoti n'agamba nti: “Mujjukira nga bwe mwagaana okunnyamba? Mwagamba nti temuyinza kuwa mmere basajja bange abakooye, kubanga nali sinnawamba Zeba ne Zalumunna. Kati baabano, mubalabe!”
16
N'addira amaggwa n'emyeramannyo eby'omu ttale, n'abonereza abakulembeze b'e Sukkoti.
17
Era n'amenyaamenya omunaala gw'e Penweli, n'atta abasajja ab'omu kibuga ekyo.
18
Awo Gidiyoni n'abuuza Zeba ne Zalumunna nti: “Abasajja be mwattira e Tabori baali bafaanana batya?” Ne baddamu nti: “Baali bakufaanana, buli omu ku bo ng'afaanana omwana wa kabaka.”
19
Gidiyoni n'agamba nti: “Baali baganda bange, abaana ba mmange bennyini. Ndayira Mukama omulamu nti singa temwabatta, sandibasse mmwe.”
20
N'agamba Yeteri, mutabani we omukulu nti: “Situka, obatte!” Kyokka omubuvuka oyo n'atasowola kitala kye. Yatya, kubanga yali akyali mulenzi muto.
21
Zeba ne Zalumunna ne bagamba Gidiyoni nti: “Ggwe oba otutta! Ekikolwa ng'ekyo kisobolwa musajja!” Gidiyoni n'asituka n'abatta. N'atwala eby'okwewoomya ebyali bitimbiddwa mu bulago bw'eŋŋamiya zaabwe, ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi.
22
Awo Abayisirayeli ne bagamba Gidiyoni nti: “Tufuge ggwe era n'abasika bo, kubanga otuwonyezza Abamidiyaani.”
23
Gidiyoni n'abagamba nti: “Nze sigenda kubafuga, wadde mutabani wange. Mukama ye anaabafuganga.”
24
Kyokka n'abagamba nti: “Ka mbasabe kino: buli omu ampe empeta ez'omu matu ze yanyaga.” (Abamidiyaani baalina empeta z'omu matu eza zaabu ng'Abayisimayeli abalala).
25
Ne baddamu nti: “Tunaazikuwa na ssanyu.” Ne baaliirawo olugoye, buli omu n'ateekawo empeta z'omu matu ze yanyaga.
26
Empeta ze yafuna ne zizitowa kilo kumpi makumi abiri, nga tobaliddeeko byakwewoomya ebikoleddwa mu kifaananyi ky'omwezi, era n'emikuufu egy'omu bulago, n'engoye eza kakobe bakabaka ba Midiyaani ze bambala, n'enjegere ezaali mu nsingo z'eŋŋamiya zaabwe.
27
Mu zaabu oyo, Gidiyoni n'akolamu ekifaananyi, n'akiteeka mu kibuga ky'e Ofura. Abayisirayeli bonna ne bava ku Katonda, ne bagendangayo okukisinza, ne kifuuka kyambika eri Gidiyoni n'ab'omu maka ge.
28
Awo Midiyaani n'ewangulwa Yisirayeli, n'eteddamu kubeeraliikiriza. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana, okutuusa Gidiyoni lwe yafa.
29
Yerubbaali, ye Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi n'addayo mu maka ge, n'abeera eyo.
30
Yazaala abaana ab'obulenzi nsanvu, kubanga yawasa abakazi bangi.
31
Era yalina omukazi muganzi we, eyali e Sekemu, naye n'amuzaalira omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Abimeleki.
32
Gidiyoni mutabani wa Yowaasi n'afa ng'amaze okukaddiwa obulungi, ne bamuziika mu ntaana ya Yowaasi kitaawe mu Ofura, ekibuga ky'Ababiyezeeri.
33
Gidiyoni nga yaakafa, Abayisirayeli ne baddamu obutaba beesigwa eri Katonda, ne basinza Babbaali, ne bafuula Baali-Beriti lubaale waabwe,
34
ne beerabira Mukama, Katonda waabwe eyabawonya abalabe baabwe bonna ababeetoolodde.
35
Tebaalaga kusiima ba nnyumba ya Gidiyoni olw'ebirungi byonna bye yakolera Yisirayeli.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21