bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 16
Judges 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
1
Samusooni n'agenda e Gaaza n'alabayo omukazi malaaya, ne yeebaka naye.
2
Ab'e Gaaza ne bamanya ng'ali eyo, ne bazinda ekifo ekyo, ne bamuteega ekiro kyonna ku mulyango gw'ekibuga nga bagamba nti: “Obudde ka bukye, tulyoke tumutte.”
3
Kyokka Samusooni ne yeebaka okutuuka mu ttumbi. N'agolokoka n'akwata oluggi lw'emiryango gy'ekibuga, n'alusimbulamu n'emyango gyalwo gyombi n'ebisiba, n'abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso ga Heburooni.
4
Ebyo bwe byaggwa, Samusooni n'aganza omukazi mu kiwonvu ky'e Soreki, erinnya lye Delila.
5
Abakungu b'Abafilistiya ne bagenda eri omukazi oyo, ne bamugamba nti: “Mukemereze omanye amaanyi amangi mwe gasibuka, oba nga tuyinza okumusobola, tumusibe abe nga takyeyinza. Buli omu ku ffe ajja kukuwa ebitundu bya ffeeza kikumi.”
6
Awo Delila n'agamba Samusooni nti: “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, n'ekiyinza okukusiba n'oba nga tokyeyinza.”
7
Samusooni n'agamba nti: “Bwe bansibya enkolokolo empya omusanvu ezitakaze, nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
8
Awo abakungu b'Abafilistiya ne baleetera Delila enkolokolo empya musanvu ezitakaze, n'azimusibya.
9
Omukazi era yalinawo abasajja abateeze mu kisenge ekirala. N'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuguddeko!” Samusooni n'akutula enkolokolo ng'omuguwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gukutte omuliro. Awo amaanyi ge ne gatategeerekeka.
10
Delila n'agamba Samusooni nti: “Ndaba ng'ombuzaabuza era onnimba! Kaakano nkwegayiridde, mbuulira ekiyinza okukusiba.”
11
N'amugamba nti: “Bwe bansibya emiguwa emiggya egitakozesebwangako, nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
12
Awo Delila n'addira emiguwa emiggya n'amusiba. N'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuguddeko!” Abasajja era baali bateeze mu kisenge ekirala. Kyokka n'akutula emiguwa mu mikono gye ng'ewuzi.
13
Delila n'agamba Samusooni nti: “Okutuusa kati ombuzaabuza era onnimba bulimbi. Mbuulira ekiyinza okukusiba.” N'amugamba nti: “Emivumbo omusanvu egy'enviiri zange bw'ogiruka n'engoye ku muti okulukirwa, n'oginyweza n'olubambo, nja kuba munafu, mbe ng'omusajja omulala yenna.”
14
Delila n'amwebasa, n'addira emivumbo omusanvu egy'enviiri ze n'agiruka n'engoye, n'azisibira ddala n'olubambo, n'alyoka aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuliko!” Samusooni n'azuukuka mu tulo, ne yeetakkuluza ku lubambo lw'omuti ogulukirwako n'engoye ezirukiddwa.
15
Awo omukazi n'agamba nti: “Oyinza otya okugamba nti onjagala ate nga tonneesiga? Waakambuzaabuza emirundi gino esatu n'otombuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.”
16
Bw'atyo omukazi n'amutawaanyanga buli lunaku ng'amubuuza, okutuusa lwe yeetamirwa ddala.
17
N'amubuulira byonna, n'amugamba nti: “Simwebwangako nviiri, kubanga ndi Muwonge eri Katonda okuviira ddala mu lubuto lwa mmange. Bwe mmwebwako enviiri, amaanyi gange ganvaako, ne nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
18
Delila bwe yamanya ng'amubuulidde byonna, n'atumira abakungu b'Abafilistiya nti: “Mukomewo omulundi guno gumu gwokka kubanga ambuulidde byonna.” Awo ne bajja gy'ali, nga n'ensimbi bazze nazo.
19
Delila ne yeebasa Samusooni ng'amuleze, n'ayita omusajja n'amwa emivumba omusanvu egy'enviiri za Samusooni. N'atandika okumusiba nga takyeyinza, amaanyi ge ne gamuvaako.
20
Awo omukazi n'aleekaana n'amugamba nti: “Samusooni, Abafilistiya bakuliko!” N'azuukuka mu tulo, n'alowooza nti: “Nja kwetakkuluza ŋŋende nga bulijjo.” Yali tamanyi nga Mukama amulese!
21
Abafilistiya ne bamukwata ne bamuggyamu amaaso. Ne bamutwala e Gaaza, ne bamusibya enjegere z'ekikomo, ne bamuteeka ku gw'okuseeranga ku lubengo mu kkomera.
22
Kyokka enviiri ze ne zitandika okuddako okumera.
23
Awo abakungu b'Abafilistiya ne bakuŋŋaana okusanyuka n'okuwaayo ekitambiro ekinene eri lubaale waabwe Dagoni, nga bagamba nti: “Lubaale waffe atuwadde okuwangula Samusooni omulabe waffe.”
24
Awo bwe baali basanyuka, ne bagamba nti: “Muyite Samusooni atusanyuseemu!” Bwe baleeta Samusooni, nga bamuggya mu kkomera, n'abasanyusaamu, ne bamuyimiriza wakati w'empagi. Abantu bwe baamulaba ne batendereza lubaale waabwe nti: “Lubaale waffe atuwadde okuwangula eyazikiriza ensi yaffe, era eyatuttako abangi!”
26
Samusooni n'agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti: “Leka nkwate ku mpagi eziwanirira ennyumba, nzeesigameko.”
27
Ennyumba yali ejjudde abasajja n'abakazi. Era abakungu b'Abafilistiya baali bali awo bonna. Ne waggulu ku kasolya kwaliko abasajja n'abakazi ng'enkumi ssatu, abaali batunuulira Samusooni ng'abasanyusaamu.
28
Awo Samusooni ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda, njijukira! Nkwegayirira ompe amaanyi gange omulundi guno gumu gwokka ayi Katonda, mu kikolwa kino ekimu mpoolere eggwanga ku Bafilistiya olw'okunzigyamu amaaso gange gombi!”
29
Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati, eziwaniridde ekizimbe, n'azimalirako amaanyi gonna, omukono gwe ogwa ddyo ku emu, n'ogwa kkono ku ndala.
30
N'aleekaana, n'agamba nti: “Ka nfiire wamu n'Abafilistiya!” N'asindika n'amaanyi ge gonna, ennyumba n'egwa ku bakungu, ne ku bantu bonna abaali omwo. Samusooni bw'atyo n'atta bangi mu kufa kwe, okusinga be yatta nga mulamu.
31
Awo baganda be n'ab'ennyumba ya kitaawe bonna ne bajja okutwala omulambo gwe. Ne bamutwala ne bamuziika wakati w'e Zora ne Esutawoli, ku biggya bya kitaawe Manowa. Yali akulembedde Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21