bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Judges 19
Judges 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
1
Awo mu nnaku ezo nga tewannaba kabaka mu Yisirayeli, ne wabaawo Omuleevi, eyabeeranga ewala mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'aggya omuwala mu Betilehemu mu Buyudaaya n'amuwasa.
2
Omuwala n'ayenda, n'anyiiza bba, n'amunobako n'addayo mu nnyumba ya kitaawe mu Betilehemu mu Buyudaaya n'amalayo emyaka ena.
3
Bba n'asituka n'agenda okumuwooyawooya amukomyewo. N'atwala omuddu we n'endogoyi bbiri. Omuwala n'amuyingiza mu nnyumba ya kitaawe. Kitaawe w'omuwala bwe yamulaba, n'amwaniriza.
4
Kitaawe w'omuwala n'alwisa mukoddomi we, n'amukkirizisa okumalayo ennaku ssatu. Bwe batyo ne balya ne banywa, ne basulayo.
5
Mu makya g'olunaku olwokuna, ne bagolokoka nga bukyali, ne beetegeka okugenda. Kyokka kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Mumale okulya ku kamere mulyoke mugende.”
6
Awo ne batuula, ne balya ne banywa bombi wamu. Kitaawe w'omuwala n'agamba mukoddomi we nti: “Nkwegayiridde kkiriza osule, osanyukeko.”
7
Omusajja n'agolokoka okugenda, kyokka kitaawe w'omuwala n'amwegayirira n'asulayo nate.
8
Ku lunaku olwokutaano n'agolokoka nkya mu makya okugenda. Kitaawe w'omuwala n'amugamba nti: “Sanyukako, nkwegayiridde. Mubeere wano okutuusa obudde lwe bunaawungeera.” Bwe batyo ne balya bombi.
9
Omusajja ne mukazi we n'omuddu bwe baasituka okugenda, kitaawe w'omuwala n'agamba nti: “Laba, kaakano obudde buubuno buwungedde. Mbeegayiridde musule. Obudde bunaatera okuziba. Beera wano osanyuke. Enkya mukeere okutambula, oddeyo eka.”
10
Naye omusajja n'atakkiriza kusula kiro kirala. Awo n'asituka n'atambula ng'ali ne mukazi we n'omuddu we n'endogoyi zaabwe ebbiri, eziriko amatandiiko, ne boolekera Yebusi, ye Yerusaalemu.
11
Bwe baatuuka e Yebusi ng'obudde bugenze nnyo, omuddu n'agamba mukama we nti: “Lwaki tetukyama ne tusula mu kibuga kino eky'Abayebusi?”
12
Mukama we n'amugamba nti: “Tetuukyame kusula mu kibuga ky'abatali Bayisirayeli. Tuyitewo tweyongereyo katono, tusule mu Gibeya oba mu Raama.”
14
Awo ne batambula ne bayisa Yebusi ne beeyongerayo. Obudde ne bubazibirira nga bali kumpi ne Gibeya mu kitundu ky'ab'Ekika kya Benyamiini.
15
Ne bakyama eyo gye baba basula. Ne bayingira mu kibuga, ne batuula mu kibangirizi, ne wataba abayingiza mu nnyumba ye okubasuza.
16
Bwe baali bakyali awo, omusajja omukadde n'ajja ng'ava mu mirimu gye mu nnimiro akawungeezi. Omusajja oyo okusooka, yali wa mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi, naye olwo yali abeera mu Gibeya. Abantu baayo abalala baali ba mu Kika kya Benyamiini.
17
Omusajja omukadde bwe yayimusa amaaso ge, n'alaba omuyise oli, mu kibangirizi ky'ekibuga, n'amubuuza nti: “Ova wa? Era ogenda wa?”
18
Omuleevi n'addamu nti: “Tuva Betilehemu mu Buyudaaya, nga tuddayo eka ewala mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Naye tewali atuyingizza wuwe kutusuza,
19
wadde nga tulina omuddo n'emmere y'endogoyi zaffe. Era nnina emmere n'omwenge ebyange ne mukazi wange, n'omuddu wange. Tulina byonna bye twetaaga.”
20
Omusajja omukadde n'agamba nti: “Mujje ewange, nze nja kubalabirira. Temujja kusula mu kibangirizi.”
21
Awo n'abayingiza mu nnyumba ye, endogoyi zaabwe n'aziwa ebyokulya. Bo ne banaaba ebigere, ne balya, ne banywa.
22
Awo bwe baali nga basanyuka, abasajja ab'omu kibuga abagwenyufu ne bazingiza ennyumba enjuyi zonna, ne bakonkona ku luggi. Ne boogera ne nnannyini nnyumba, omukadde oli, nga bamugamba nti: “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, twebake naye.”
23
Omusajja nnannyini nnyumba n'afuluma n'abagamba nti: “Nedda, bannange! Mbeegayiridde, temukola kibi kyenkanidde awo! Omusajja ono mugenyi wange. Temukola kya bugwenyufu kino.
24
Mulabe, waliwo mukazi we, ne muwala wange akyali embeerera. Abo be nnaafulumya kaakano, ne mubakolako kye mwagala. Naye omusajja ono temumukolako kya bugwenyufu ekyenkana awo!”
25
Naye abasajja ne batamuwuliriza. Awo Omuleevi n'akwata mukazi we, n'amufulumya gye bali. Ne bamwebakako, ne bamukolako eby'effujjo ekiro kyonna. Obudde bwe bwali bukya ne bamuta.
26
Awo obudde nga bukya, omukazi n'ajja n'agwa awo ku luggi lw'ennyumba y'omusajja omukadde, omwali bba, n'abeera awo okutuusa lwe bwakya.
27
Awo bba bwe yagolokoka ku makya n'aggulawo oluggi, n'afuluma okugenda, n'asanga mukazi we, ng'agudde mu maaso g'ennyumba, emikono gye nga gikunukkiriza omulyango.
28
N'amugamba nti: “Golokoka tugende.” Kyokka nga taddamu. N'amuteeka ku ndogoyi ye, n'agenda ewuwe.
29
Awo bwe yatuuka eka, n'ayingira mu nnyumba ye, n'aggyayo akambe, n'akwata omulambo gwa mukazi we n'agusalamu ebitundu kkumi na bibiri, buli kika kya Yisirayeli n'akiweerezaako ekitundu.
30
Awo bonna abaalaba ekyo ne bagamba nti: “Ekiri nga kino tekibangawo era tekirabibwangako bukya Bayisirayeli bava mu Misiri. Mukirowooze, muteese, tulabe eky'okukola!”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21